TOP

Eya basketball erwanira z'Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 18th June 2018

ABAZANNYI ba ttiimu y'eggwagga ey'abali wansi w’emyaka 18 mu muzannyo gwa basketball, bataka mu kibuga Dar- Es- Salaam ekya Tanzania, gye bagenda okuttunkira mu mpaka za 'Zone V Championship'.

Atuwadde 703x422

Katende (wakati mu ttaayi) ng'asiibula abazannyi basketball.

Bwe yabadde asiibula abazannyi ku nkomerero ya wiiki ewedde, Fred Katende, amyuka ssaabawadiisi wa NCS, ng'ali wamu ne pulezidenti wa basketball, Ambrose Tashobya, yabakuutidde okukuuma omutindo, basobole okudda n'obuwanguzi.

Empaka zino zigendereddwaamu okunooya abanaakiika mu mpaka z'Afrika eza 'Africa Nations Championship', ng'ez'abalenzi zaakubeera Mali, sso ng'abawala bakuttunkira Mozambique.

Agamu ku mawanga ageetabyemu kuliko; Uganda, Rwanda, South Sudan ne Tanzania.

Empaka zaatandise ggulo (Ssande), nga ttiimu y'abawala yazannye ne Tanzania ate ey'abalenzi, ne Rwanda.

Zikomekkerezebwa ku Lwakutaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu