TOP

Tekinologiya ku bisaawe aggye puleesa ku baddiififiri

By Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2018

OMUZANNYO gw'omupiira gukyuka enkya n'eggulo. Ekiteekesaamu enkyukakyuka zonna kugezaako kufuna mazima naddala mu mpaka ez'amaanyi nga kati eziyindira mu Russia.

Videoassistantrefereeuseattheemiratesfacupgettyimages91496483260784441 703x422

Essira balissa nnyo ku ggoolo, enywedde oba tenywedde, okukuuma, kaadi emmyuufu oba ddiifiri okuba nga teyeetegerezza muzannyo.

Mu 2002, mu mpaka ze zimu ezaali mu Korea/Japan, ze nneetabamu ng'omuyambi wa ddiifiri, tewaali ddiifiri kugenda na bayambi be. Kati eyo ye nkola.

Ddiifiri alondebwa n'abayambi be babiri okuva mu nsi ye oba bamulonderako abalala. Ffe tetwalina kakebe kafuuyira (spray).

Ddiifiri alina akakebe ke yeesiba mu kiwato, kalimu ebintu by'afuuyira ku busubi ebirabika nga ejjovu.

Bino biyamba kulaga bazannyi abazze mu kasenge butabuuka layini eyo. Bazzaako empuliziganya.

Ddiifiri asobola okwogera obulungi ennyo n'abayambi be. Bino nze ssaabikozesaako. Tekinologiya abala ggoolo (Goalline Technology) ayamba ddiifiri okubala ggoolo amaaso gye gatasobola kulaba.

Mu Russia twakalabayo ggoolo ebaliddwa tekinologiya ono emu eya, Pogba gye yateebye Australia.

Baakasembyayo abatuula ku ttivvi, aboogera ne ddiifiri ku nsonga ezisinga okuleeta obugulumbo mu muzannyo.

Bufalansa ng'ezannya Australia, ddiifiri eyava mu Uruguay, Andres Cunha, peneti yagigabye aba ttivvi bamaze kumuyamba. Wamu n'Omufrika Bakery Gassama mu gwa Peru ne Denmark.

Mu kutwalira awamu, ennamula ekyali nnungi ddala. Baddiifiri babaggyeeko puleesa, tekinologiya abayambako. Abayambi ba baddiifiri babagaanyi okumala gawanika okukuuma. Baleke omuzannyo gugende mu maaso!

Ggoolo bw'enywa nga waliwo akuumye, abatudde mu kasenge ka TV, bamuloope. El Hadji Samba, omuyambi wa ddiifiri Malang ab'e Senegal, mu muzannyo gwa Costa Rica ng'ezannya Serbia, yawaniseeyo 'offside' ey'empewo emu. Ajja kuwulira bakama be!

Ddiifiri Malang, nze ye Mufrika akyasinze okukola obulungi. Akavuvung'ano ka Matic owa Serbia n'omu ku batendesi ba Costa Rica, tekaamumalidde budde.

alitomusange12@gmail.com 0772624258

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...