TOP

Vipers etutte ekya liigi y'abato

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2018

TTIIMU ya Vipers ey'abatasussa myaka 18, esitukidde mu kikopo kya liigi y'abato, eya FUFA Junior League, bw'ekubye Onduparaka (1-0).

Kabke 703x422

Vipers SC 1-0 Onduparaka FC

Ggoolo ya Vipers yateebeddwa Sula Mpaga, era obuwanguzi bwagifudde ttiimu esoose okuwangula ekikopo kino emirundi ebiri.

Yasooka kukiwangula mu 2015. Kyokka omupiira katono guyiike, abawagizi ba Onduparaka bwe baalumbye aba Vipers nga bagamba nti ddiifi ri yabaddemu kyekuubira eyamuviiriddeko okuwa abazannyi baabwe kaadi emmyuufu etaabaddeyo.

Bano oluvannyuma poliisi yabakkakkannyizza. Vipers yafunye 5000,000/- n'ekikopo ate Onduparaka n'eweebwa 2,000,000/-.

Mu kiseera kye kimu, kkampuni ya Airtel, yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ena ng'evujjirira liigi eno, era buli mwaka yaakuwangayo 55,260,000/-.

Noella Byuma, kitunzi wa Airtel mu Uganda, yakwasizza amyuka pulezidenti wa FUFA, Darius Mugoya, ceeke ya sizoni ejja n’asuubiza nga kkampuni yaabwe bw'ejja okugenda mu maaso okutumbula emizannyo mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...