TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Mulindwa bamuloopedde abazannyi bamawale mu Vipers

Mulindwa bamuloopedde abazannyi bamawale mu Vipers

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd June 2018

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo okuzza endagaano zaabwe obuggya.

Lindwa 703x422

Mulindwa

Bano baakulembeddwaamu omukwasi Ismail Watenga eyasabye doola 60,000 (obukadde 220 mu za Uganda), nti bwe kitaba ekyo agenda kwabulira ttiimu kuba omupiira gw'azannya tegukyali gwa binusu.

Watenga, eyatandika okukwatira Vipers mu sizoni ya 2013/2014 ng’ava mu St Mary’s Kitende, endagaano ye yaweddeko.

Ono yeegattiddwaako omuzibizi Halid Lwaliwa, agambibwa okusaba doola 30,000 (obukadde 114), nga naye agamba nti ssinga nnannyini ttiimu eno, Dr. Lawrence Mulindwa tazimuwa, agenda kutambulamu.

Kigambibwa nti bombi baagaanyi okutendekebwa nga bagamba nti balina kusooka kufuna ssente zino.

James Alitho, agambibwa okusaba doola 10,000 (obukadde 38), ye ensonga ze zikolwako, era yakomyewo mu kutendekebwa.

Deus Bukenya, Shafik Bakaki ne Musa Malunda beegobye dda, ate Tony Odur ne Erisa Ssekisambu bo tebannamanya kiddako, oluvannyuma lw'endagaano zaabwe okuggwaako.

ABAKUNGU BEETEMYEMU

Embeera eno etemye mu bakungu ba Vipers, ng’ab-amu bagamba nti bateeseeganye n'abazannyi bano bakendeeze ku muwendo, sso ng'abalala bagamba nti tebalina kya maanyi kye bagenda kubongerako.

Watenga, Lwaliwa ne Alitho baayolebwa kuva mu St Mary’s Kitende, ekintu ekirumya abakungu ba ttiimu emitwe nga beewuunya nti abantu be balabiri-dde okuva obuto, batuuka batya mu mbeera bweti! Abalala beebuuzizza nti Lwaliwa abadde omulwadde okumala omwaka mulamba nga tazannya, ne bamujjanjaba atuuka atya okubakaliramu atyo!

Ensonda zaategeezezza nti abaagala abazannyi bano okugenda bagamba nti ttiimu bagiruddemu nnyo ne batuuka n’okugifuula eyaabwe nga tebakyagambikako, bannaabwe abapya babayisa bubi, n’okugobya abatendesi.

LWAKI ENKAMBI TETEREDDE

Kigambibwa nti Mulindwa yanyiiga abazannyi okumuteeka ku nninga bwe baamutuukirira ne bamugamba nti eby'okubagaana okuzannya mu mpaka za FUFA Drum bikyamu, kuba baali baakukaligibwa okuyitibwa ku ttiimu z'eggwanga.

Ensonda ziraga nti kino Mulindwa yakikkiriza mu bulumi kuba baamukakasa nga bwe bagenda okumuwangulira ekikopo, kyokka ne bamukyusisa kye yali asoose okusalawo eky'obutabakkiriza kuzizannya.

Ensonda zaategeezezza nti Mulindwa yayogeddeko ne Watenga n’amugamba nti ssente ezo tagenda kuzimuwa, n'amwagaliza eddembe wonna waasalawo okugenda.

Ensonda zongerako nti mu kaseera kano Vipers tekyayagala bazannyi bagiruddemu nga batunuulidde kuzimba ttiimu mpya okugyawulira ddala ku sisitiimu ebaddewo.

Kigambibwa nti ekirowoozo kino kyaleeteddwa Eddie Butindo, akulira ebyekikugu nti era yakiteeka mu lipoota gye yawa bakama be, ng’ayagala abazannyi abaludde mu ttiimu eno baveewo afune abapya.

Nti wano Butindo yabawadde ekyokulabirako kya KCCA eyeesigamye ku bamusaayimuto ate ne bakola bulungi ne mu mpaka za CAF Champions League. Kino kyeyolekedde ku kapiteeni wa ttiimu eno, Nicholas Wadada eyakozesezza olukujjukujju ne yeetunda mu Azam eya Tanzania ng’ate endagaano ekyaliko.

Kigambibwa nti aba Vipers wadde baakitegeddeko tebaamulemesezza kuba y'omu ku be babadde baagala okweggyako.

Wabula Bukedde bwe yatuukiridde Butindo, yategeezezza nti ye talina muzannyi gw’agoba kuba abazannyi abalina obumanyirivu be basobola okuzannya obulungi ne yeegaana n'ekyokuwandiika lipoota.

“Tewali lipoota gye nkola kuba mu ndagaano yange ebyo tebiriimu. Eky'abazannyi okulwawo sikirinaako buzibu kuba be basobola okuzannya obulungi,” Butindo bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...