TOP

Ogwa Senegal gusitudde ebikonge

By Musasi wa Bukedde

Added 24th June 2018

Ogwa Senegal gusitudde ebikonge

Kaw1 703x422

Bungereza - Panama, 9:00

Japan - Senegal, 12:00

Poland - Colombia, 3:00

OMUPIIRA gwa leero (Ssande) ogw’ekibinja H wakati wa Senegal ne Japan, guwalirizza n’abali mu bifo ebinene mu mawanga gombi okugubeerako. Ttiimu zombi zaawangula emipiira gyazo egyasooka mu kibinja nga Senegal yakuba Poland (2-1) ate Japan n’ekuba Colombia ku ggoolo ze zimu.

Awangula ogwa leero, atangaaza emikisa egiva mu kibinja. Pulezidenti wa Senegal, Macky Sall yaleseewo emirimu gye n’ajja e Russia abeewo ng’omujulizi ng’eggwanga lye liteeka ekigere ekisooka mu luzannya lwa ttiimu 16. Mu 2002 nga Senegal ekuba Bufalansa (1-0), Sall yali omu ku baali mu kisaawe nga balaba omupiira ogwo.

OMUMBEJJA ASITUKIDDEMU Takamado, omumbejja w’e Japan ng’ono akola ng’omuyima w’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga eryo, naye talutumiddwa mwana. Yasooka kulabwako ku Lwokuna mu kibuga Kazan ng’eno Japan gye yakuba enkambi. Guno mulundi gwakubiri ng’alaba World Cup eno kuba yasooka kulaba mupiira Japan kwe yakubira Colombia e Ekaterinburg Ssande ewedde.

OBUKODYO BWA TTIIMU Wadde nga ttiimu zombi zaasemba okusisinkana mu September wa 2003, Senegal n’ewangula (1- 0), ogwa leero gwe mupiira Senegal gw’egenda okusooka okusisinkana amawanga agava ku ssemazinga Asia mu World Cup.

Sadio Mane teyalabika nnyo mu mupiira gwa Poland, obukujjukujju bwe ng’ali ku mupiira busuubirwa okuwa Japan obuzibu. “Omupiira ogwasooka gwatuwa obuzibu naye twaguwangula wabula leero tugenda kuteekawo buli kakodyo akanaatusobozesa okuwangula,” Aliou Cisse omutendesi wa Senegal bwe yagambye. Okufaananako ne Senegal, Japan nayo eri mu kweyubula wabula ng’ekyalina olugendo kuba bangi ku bazannyi beerina mu World Cup eno bakuliridde.

Keisuke Honda, Shinji Kagawa, Shinji Okazaki ne Maya Yoshida bonna balina obumanyirivu. Japan nnungi mu kukuuma n’okukwatirira omupiira era nga kino kiyinza okuwa Senegal obuzibu “Tetugenda kukkiriza Senegal kutujooga kuba naffe tulina abazannyi abalungi abasobola okuwangula omupiira guno,” Makoto Hasebe, kapiteeni wa Japan bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA