TOP

Kyaggwe oluwangudde Butambala n'ewaga

By Musasi wa Bukedde

Added 26th June 2018

BATABANI ba Ssekiboobo ab'e Kyaggwe empaka z’Amasaza baazitandise na maanyi, bwe baakubye Butambala 2-1, mu mupiira ogwabadde ku kisaawe kya Bishop's SS e Mukono.

Waga 703x422

Kapiteeni wa Kyaggwe, Jackson Ssemugabi (ku kkono) ng'asala Richard Kakumba owa Butambala.

Kyaggwe 2-1 Butambala

Bugerere 0-0 Ssingo

Kabula 1-2 Kyaddondo

Ssese 1-1 Kkooki

Buddu 2-1 Bulemeezi

Busujju 3-1 Buluuli

"Tubadde n'abalwadde bangi naye Katonda atuyambye ne tuwangula omupiira guno," maneja wa Kyaggwe Mickdard Mulimira bwe yagambye.

Omupiira guno gwetabiddwaako omubaka wa Mukono South, Johnson Muyanja Ssenyonga ng'ono buli ggoolo yagiguze emitwalo 10, n'abasuubiza ne 1,000,000/- ku mupiira oguddako.

Kyaggwe eri mu kibinja B ne Ssingo, Bugerere, Butambala ne Mawogola.

Ggoolo za Kyaggwe zaateebeddwa Abdu Karim ne Fred Juuko 'Kalevu' mu kitundu ekyokubiri ne zisazaamu esanyu lya Butambula eyasoose okulengera akatimba mu kitundu ekisooka, ng’eyita mu Isma Lamutala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...