TOP
  • Home
  • Rally
  • Omar Mayanja alaalise okuliisa bavuzi banne enfuufu

Omar Mayanja alaalise okuliisa bavuzi banne enfuufu

By Nicholas Kalyango

Added 1st July 2018

NNANTAMEGWA wa 2015 mu mmotoka z’empaka (2015) ne ddigi, Arthur Blick Jr, waakufuna ekigezo eky’enjawulo leero (Ssande) mu mpaka za ‘Moutain Drew MX4, CRC & 2WD FMU Garuga Sprint’.

Wano 703x422

Evo 10 ya Mayanja. Emmotoka ekika kye kimu ne Blick gy’avuga.

Mukoddomi we, Omar Mayanja amusonzeemu ng’omu ku bazze okuliisa enfuufu mu mpaka zino.

Mayanja agamba nti, “Blick wadde yafunye emmotoka ey’amaanyi ekika kya Mitsubishi Evo 10, ate nga nnalabye obutambi bwe ng’atambula bulungi mu kwegezzaamu, akimanye nange obuwanguzi mbwagala.

Empaka zino njagala kuzikozesa okwetegekera eza Pearl of Africa.” Blick, mukoddomi wa Mayanja era ye yamuwa omukyala Leira Mayanja.

Leero agenda kuvuganya mu mizannyo ebiri, nga waakusooka mu ddigi nga tannajja kuvuganya na mukoddomi we mu mmotoka.

“Eky’okubeera nti ng’enda kuvuganya mu mizannyo gyombi, tekigenda kunkosa. Ndi mwetegefu okuliisa aba ddigi n’emmotoka enfuufu era buli asuubira obuwanguzi abwerabire kuba emmotoka nagimanyidde ate nga ne mu ddigi nnekakasa kye nkola,” Blick bwe yagambye.

Abavuzi ba ddigi 45 n’aba mmotoka 35 be bakakasizza okwetaba mu mpaka zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...

Baabano babbulooka b’e Mulago abateeka...

BAKAYUNGIRIZI abaali bamanyiddwa ennyo mu kutunda ettaka kyewuunyisa nti kati baatuuka dda ne mu malwaliro!

Minisita 220x290

Kkamera ziyambye okulaga abatemu...

KKAMERA za poliisi ez’oku nguudo n’ezobwannannyini, y’emu ku nteekateeka za Pulezidenti Museveni ekkumi ze yateekawo...