TOP

KCCA ekansizza Bernard Muwanga

By Hussein Bukenya

Added 1st July 2018

KCCA FC eyongedde okusokoola SC Villa bw’egisokoddemu kapiteeni waayo Bernard Muwanga.

Vila 703x422

Agava mu Villa galaga nti Muwanga abadde kapiteeni waayo yeegasse ku KCCA ku ndagaano ya myaka esatu.

Muwanga, nga ye kapiteeni wa Cranes ya CHAN, yeegatta ku Villa mu sizoni ya 2015/2016 ng’ava mu Bright Stars, endagaano ye ebulako emyezi mukaaga kyokka kigambibwa nti baategeereganye yeegatte ku KCCA.

Muwanga, yafuuse kapiteeni wa SC Villa owookusatu okwegatta ku KCCA mu sizoni nnya eziyise. Steven Bengo ye yasooka mu sizoni ya 2014 ate Isaac Kirabira n’agyegattako mu 2016 wadde ye yasooka kuzannyirako Saints.

Omwogezi wa KCCA, Moses Magero yategeezezza ebya Muwanga bikyali kuba tebannabaako kiwandiiko kitongole kye bafulumya.

“Buli kye tukola tulina okuvaayo ne tutegeeza abantu naye kati tetulina kye twakoze,” Magero bwe yannyonnyodde.

Wadde Magero yeegaanyi kyokka ye Muwanga yagambye nti mu kaseera kano muzannyi wa KCCA kuba buli kimu kyawedde era alinze lunaku KCCA lw’eneemuyita atandike okutendekebwa.

“Kituufu nabadde n’endagaano ne Villa kyokka ebyo byawedde era essaawa eno ndi muzannyi wa KCCA era munsabire omupiira ngukube bulungi. Villa mbadde ngyagala kuba erina bingi by’eyongedde ku kitone kyange naye sibadde na kya kukola,” Muwanga bwe yategeezezza.

Ono yafuuse omuzannyi owookubiri KCCA gwe yaakagula nga yeegasse ku Sulaiman Mutyaba gwe yasooka okukansa mu kaweefube w’okwongera okwenyweza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.