TOP

Balwanira bwakyampiyoni

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2018

ABAKUBI b’ebikonde n’abawagizi baabyo beebugira fayinolo y’empaka za National Boxing Intermediates ekomekkerezebwa leero (Ssande) ku kisaawe kya ‘Katwe Grounds’ e Katwe.

Samanyi 703x422

Empaka zino zimaze wiiki bbiri nga zibumbujja nga leero lwe lusalawo aziwangula.

Olutalo ku kikopo lusinga kuba wakati wa Police Boxing Club, abakulembedde n’obubonero 16, UPDF eri ku 11, University of Pain (9) ne Malalo Boxing Club.  Buli ttiimu ewaga.

William Buyondo, akulira akakiiko akategesi mu UBF yagambye nti basuubira okuba ne fayinolo ey’ebbugumu olwa kiraabu ezaayolesezza omutindo omulungi mu nzannya z’okusirisizaawo.

“Empaka zino zibaddeko okuvuganya okw’amaanyi ku luzannya olusooka, ‘quarter’ ne semi era tusuubira fayinolo eya kaasammeeme kuba abazannyi be tulina beebo abasaanidde.” Buyondo bwe yagambye.

ABAKUBI b’ebikonde n’abawagizi baabyo beebugira fayinolo y’empaka za National Boxing Intermediates ekomekkerezebwa leero (Ssande) ku kisaawe kya ‘Katwe Grounds’ e Katwe. Empaka zino zimaze wiiki bbiri nga zibumbujja nga leero lwe lusalawo aziwangula. Olutalo ku kikopo lusinga kuba wakati wa Police Boxing Club, abakulembedde n’obubonero 16, UPDF eri ku 11, University of Pain (9) ne Malalo Boxing Club. Buli ttiimu ewaga. William Buyondo, akulira akakiiko akategesi mu UBF yagambye nti basuubira okuba ne fayinolo ey’ebbugumu olwa kiraabu ezaayolesezza omutindo omulungi mu nzannya z’okusirisizaawo. “Empaka zino zibaddeko okuvuganya okw’amaanyi ku luzannya olusooka, ‘quarter’ ne semi era tusuubira fayinolo eya kaasammeeme kuba abazannyi be tulina beebo abasaanidde.” Buyondo bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....