TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Oweebikonde eyafiiridde mu miguwa aziikiddwa

Oweebikonde eyafiiridde mu miguwa aziikiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

ABAZANNYI n'abawagizi b’ebikonde mu ggwanga bakyali mu kiyongobero olw'omutendesi, Mustafa Katende eyafiiridde mu miguwa ku Mmande, bwe yakubye omutwe ku ttaka.

Ow 703x422

Omugenzi Katende

Bano baayisizza obubaka obw'enjawulo ku mikutu gya yintanenti egy'enjawulo, ate abalala ne beeyiwa mu maka ge agasangibwa e Kyengera, nga buli omu awoza kimu nti; tekikkirizika.

Katende 35, abadde mutendesi wa ‘Police Boxing Club’, era y'omu ku baagiyambye okusitukira mu kikopo kya ‘National Boxing Intermediates’ ku mutendera gw’abakulu ku Ssande. Yazannyirako ne ttiimu y'eggwanga ' The Bombers', sso ng'era abadde azannya 'pulo'.

Okusinziira ku Dan Kasole gw'abadde akola naye, Katende yakedde ku makya n'agenda mu ggiimu e Kibuli we batendekera abaana.

Oluvannyuma yasabye eyaliko nnakinku mu kuggunda ehhuumi, Ayub Kalule amuwe ku bukodyo nga yeetegekera olulwana olubadde olw'okubeerawo nga July 30 e Poland.

"Mu kugezaako okukasuka ekikonde, yatalantuse n'akuba omutwe ku ttaka, ne tumutwala mu ddwaaliro e Nsambya gye baatutegeerezza nti afudde," Kasole bwe yannyonnyodde.

YAWONA OKUFA AMASASI

Mu 2008 Katende yakubwa amasasi mu kugulu ng’agezaako okutaasa banne abaali beekalakaasa olw’oluguudo lwa Nateete ku ttaano oludda mu Kinaawa Kyengera olwali olubi ennyo.

Amasasi agaamukubwa kata gamuggye ne ku bikonde era yamala ebbanga ng’apooca n'ebiwundu okutuusa mu 2010 lwe yaddamu okuzannya. W'afiiridde ng'azannye ennwaana 13 eza ‘pulo’, kw'awangudde 9 n’okukubwa 4. Yaziikiddwa eggulo e Kibibi mu Butambala.

MUTO WE YAFIIRA MU KISAAWE

Katende, okufiira mu miguwa kireeseewo ababyanguya okutandika okunonooza nti wandibaawo ekibalondoola, kuba ne muto we, Farouk Katende Bogere yafa mu ngeri y'emu.

Mu 2014, Bogere, eyali azannyira Kyengera FC ey'ekibinja ekisooka mu liigi ya Lubaga, yagwa n'akutukira mu kisaawe kya Mugwanya Summit College erisangibwa e Kyengera.

Wabula Hajji Juma Nsubuga, omu ka bafamire yagambye nti wadde enfa y'abaana bano yeefaanaanyiriza, tewali kibalondoola.

"Katende yafiirdde ku mulimu, ate nga ne muto we yafa mu ngeri y'emu, naye tewali kyetaagisa kunonooza. Ezo ntegeka za Katonda, era tetulina kwemulugunya kwonna," Nsubuga bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...