TOP

Buganda erengera semi za 'FUFA Drum' za 'FUFA Drum'

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2018

PULOVINSI ya Buganda, eyasooka okuvumbeera mu mpaka za ‘The FUFA Drum’, yamezze batabani ba Waswa Bbosa aba Kampala n'etangaaza emikisa gy'okwesogga semi.

Aglu 703x422

Martin Kizza owa Kampala (ku ddyo) ng'alwanira omupiira ne Musa Mugalu.

Bya ISMAIL MULANGWA ne BRUNO MUGOODA

Bukedi 1-0 Acholi

Ankole 0-0 Busoga

Buganda 1-0 Kampala

Shafiq Kagimu ye yateebye ggoolo ya peneti eyatuusizza Buganda ku buwanguzi, oluvannyuma lw'omukwasi wa Kampala, Hamza Muwonge okukola ekisobyo ku Allan Kayiwa mu ntabwe.

Wadde Kampala yakoze ennumba ez’okumukumu, tezaavudemu bibala olw'omukwasi wa Buganda, Nicholas Ssebwato okugwa mu mipiira gyabwe.

Abawagizi ba Kampala, baanenyezza omutendesi, Wasswa Bbosa okubakubya bwe yakyusizza mu ttiimu ezze ezannya egy’ebibinja.

“ Tukoze ekisoboka naye bigaanyi, naye mu luzannya olwokubiri tujja kuwangula," Wasswa Bbosa bwe yategezezza.

Battunkidde ku kisaawe kya Bishop SS e Mukono, ku luzannya lwa 'quarter' olusooka, era baakuddihhana ku Ssande eno nga June 8, mu kisaawe e Lugogo.

Gwo omupiira wakati wa Bugisu ne West Nile tagwawedde, abawagizi ba Bugisu bwe beeyiye mu kisaawe nga bawakanya ggoolo ya West Nile, eyateebeddwa mu ddakiika ey'e 92 teyasaze layini.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, yagambye nti balinze lipoota ya ddiifiri basalewo ekiddako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...