TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • She Cranes okutendekebwa ekuggye e Namboole lwa kisaawe kukaluba

She Cranes okutendekebwa ekuggye e Namboole lwa kisaawe kukaluba

By Stephen Mayamba

Added 5th July 2018

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka ekyusiza okutendekebwa kwayo n’ekuza e Lugogo okuva e Namboole lwa kisaawe kya ‘koransi’ kukaluba ekitiisiza omutendesi Vincent Kiwanuka olw’abazannyi okufunanga obuvune.

Shecranes5 703x422

Hindu Namukasa (ku kkono) ng'alwanira omupiira ne Jesca Achan mu kutendekebwa kwa She Cranes e Namboole ku Lwokubiri. Omutendesi Vincent Kiwanuka yasabye UNF ne bakyusa okutendekebwa ne bakuza e Lugogo ng'atidde abazannyi okufuna obuvune. (STEPHEN MAYAMBA)

She Cranes yatandise okutendekebwa ku Mmande nga June 26 okwetegeka ng’eyagala okweddiza empaka za African Netball Championships ezigenda okuyindira e Lusaka mu Zambia wakati wa August 13 ne 18.

Empaka zino ze zigenda okukola ng’ezokusunsulamu z’empaka z’ekikopo ky’ensi yonna eza Netball World Cup 2019 ezigenda okubeera e Bungereza mu kibuga Liverpool.   

Africa egenda kukiikirirwa amawanga 4 okuli South Africa ne Malawi abali mu bifo omukaaga ebisooka mu nsengeka za INF (International Netball Federation) ekibiina ekiddukanya okubaka mu nsi yonna agayisemu obutereevu okusinziira ku nsengeka ezafulumiziddwa ku ntandikwa ya wiiki eno.

Gano gakwegatibwaka amawanga amalala abiri aganasinga mu mpaka z’ e Zambia.     

Abazannyi 19 be bali mu kutendekebwa okw’ermirundi ebbiri ku makya n’olweggulo era nga mu bani mwe mujja okulondebwa 11 abajja okwegatibwako kapiteeni Peace Proscovia azannyira e Bungereza okuweza 12 ab’okutwalibwa mu mpaka mu nkambi eya wiiki emugye basuubira okukuba e Zambia okusobozesa okumanyiira embeera.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte