TOP

Munnakenya yeesunze eza ‘Pearl’

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2018

MUNNAKENYA, Manvir Baryan aweze okuddamu okukaabya Bannayuganda abavuzi ba mmotoka z’empaka, ng’abawangulako eza ‘Pearl of Africa Rally’.

1409520 703x422

Manvir

Empaka zino, ezaawangulwa Manvir omwaka oguwedde, zaakubeera Kayunga ku wiikendi ya July 20-21.

Manvir, era nga ye nnantameggwa w’engule y’Afrika (ARC), yayise ku mukutu gwe ogwa Facebook n’agamba nti: “Ke mmaze okwewandiisa, abavuzi beekaabire.

Omwaka oguwedde, empaka zino ze zampa engule y’Afrika era n’omwaka guno njagala nziwangule, ntangaaze emikisa gy’okuddamu okukola ekintu kye kimu”.

Ku ARC, Manvir akulembedde n’obubonero 50. Empaka za Pearl of Africa Rally zaakutaano ku kalenda ya ARC, nga singa Manvir aziwangula ajja kuba asigazza za mirundi ebiri (Tanzania ne Rwanda) okulangirirwa ku bwannantameggwa bw’Afrika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...