TOP

SC Villa etokota Jackson Mayanja

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

ENTEESEGANYA za Jackson Mayanja ‘Mia Mia’ ne pulezidenti wa Villa, Ying. Ben Misagga, ziri ku ntikko okulaba ng’atwala obutendesi bwa ttiimu eno sizoni ejja.

United 703x422

Jackson Mayanja

Misagga aludde nga yeegwanyiza Mayanja okutendeka ku Villa nga ne mu 2015 yamuwaako okukulira ebyekikugu kyokka n’afuna (Mayanja) omulimu e Tanzania.

Ku mulundi guno ebiriwo biraga nti enjuyi zombi zibuzaayo kitono okutuuka ku kukkaanya.

Mu kiseera kino, Mayanja talina ttiimu gy'atendeka. “Kumpi buli kimu kiwedde era obudde bwonna tugenda kumaliriza enteeseganya ne Mayanja, atandike okuwawula abazannyi nga twetegekera sizoni ejja,” Misagga bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti mu kaseera kano ttiimu yeetaaga mutendesi wa linnya nga Mayanja, kuba amanyi buli kimu ekiyinza okuteeka ttiimu ku ntikko olw’obumanyirivu bw'alina mu mulimu guno.

Mayanja, ataazannyira ttiimu ndala yonna mu Uganda okuggyako KCCA, yagambye nti singa enteeseganya zigenda bulungi, ajja kutendeka Villa kuba omulimu gwe gwa butendesi. “Twayogedde ne Misagga kyokka ne tutamaliriza, ng'enkya lwe tusuubira okutuula tulabe kye tuyinza okutuukako.

Villa saagizannyirako, naye eky'okugitendeka sikirinaako buzibu kuba ogwo gwe mulimu gwange,” Mayanja bwe yategeezezza eggulo.

Misagga yagambye nti ayagala kuzimba Villa ennywevu okwawukanako n’emirundi egiyise era yayise buli muzannyi ali wakati w'emyaka 16 ne 19 okugenda ku Villa Park balwanire ennamba.

“Villa yatandikibwawo ku musingi gwa kwezimbira bazannyi era naffe kye tulina okukola tuddemu okuwangula ebikopo,” Misagga bwe yataangaazizza. Sizoni ewedde, Villa wansi wa Wasswa Bbosa yakutte kyakusatu.

MAYANJA Y'ANI?

  • Yalyako ekirabo ky’obuteebi mu1997, sso nga yaliko omumyuka w’omutendesi wa Cranes.
  • Yasomera Kololo SS mu 1987, n’abeerako ne kapiteeni wa KCCA mu 1996.
  • Ng’omuzannyi, yawangulira KCCA ebikopo bya liigi bibiri (2) (1991 ne 1997) n’ebya Uganda Cup bibiri (2) (1987, 1990).
  • Yawangulira Cranes ebikopo bya CECAFA bisatu (1990, 1992 ne 1996).
  • Mu Uganda atendeseeko URA ne KCCA ate ebweru n'atendeka Kagera, Stand United ne Simba ez'e Tanzania, ssaako Kiyovu ey'e Rwanda.

KISALA AGENZE MU EXPRESS

Mu ngeri y’emu, Kefa Kisala yeegasse ku Express era emirimu gye agitandika ku Ssande.

Kisala, eyaweereddwa endagaano ey'emyaka ebiri, yazannyirako Express n’agitendekako, era n’agiwangulira Uganda Cup.

Akulira emirimu mu ttiimu eno, Hamza Jjunju, yategeezezza nti omulimu guno baasazeewo okuguwa Kisala kuba bamulabamu obusobozi obuyinza okuzza ttiimu eno ku kkula lye yaliko.

“ Kisala alina obumanyirivu mu mulimu guno, naye sizoni eno tetumusuubiramu kikopo kuba akyalina omulimu gw’okugogola ttiimu”, Jjunju bwe yategeezezza.

Kisala, eyeegatta ku BIDCO sizoni ewedde, yasoose kulekulira mulimu ogwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina

Lip2 220x290

Aba Takis bawuttudde omusirikale...

Aba Takis bawuttudde omusirikale

Mah 220x290

Basajjabalaba awadde ekiragiro...

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Po1 220x290

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema...

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana