TOP

Nkumba esiimye USPA

By Herbert Musoke

Added 13th July 2018

Nkumba esiimye USPA

Kam1 703x422

Abazannyi n'abatendesi baabwe nga bajaganya n'ekirabo kya USPA.

TTIIMU ya yunivasite y'e Nkumba eya volleyball, etenderezza omuzinzi oguli mu birabo bya Nile Special – USPA Awards, ebiweebwa bannabyamizannyo abasinze mu mwezi, n’aboomwaka.

Kapiteeni waabwe, Astreede Agaba agambye nti okuwangula obuzannyi bwa June, kye kimu ku byabawadde amaanyi n’okwekkiririzaamu okuwangula zaabu mu mpaka za yunivasite za Afrika ezaabadde mu Ethiopia.

“Twafuna essanyu lingi nga USPA etulonze ku buzannyi bwa June, era kyatuwadde amaanyi okuwangula zaabu mu z'Afrika, era omudaali gwaffe gwe gumu ku gya zaabu e 16 Uganda gye yafunye okuwangula empaka ezo," Agaba bwe yategeezezza ku kijjulo kya Nile Special – USPA Monthly Awards ku wooteeri ya Imperial Royale.

Ttiimu eno yalondebwa oluvannyuma lw'okusitukira mu mpaka za 'Rwanda Genocide Championships’, ezaategekebwa Rwanda, okujjukira ekittabantu ekyaliyo mu 2004. Abalala abaakwasiddwa ebirabo kuliko; ttiimu ya Cricket Cranes eyatwala ekya May, olw’okuwangula empaka za ICC Cricket Division 4, n’omuddusi Joshua Cheptegei, eyawangula emidaali gya zaabu ebiri mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu Australia mu April.

USPA eri mu kwetegekera ntujjo ya Nile Special – USPA Gala kwe banaakwasiza bannabyamizannyo abasinze mu buli muzannyo mu 2017 ebirabo, wamu n'okuttikira oyo anywedde mu bannaabwe akendo mu mwaka gwonna, nga July 20

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

Lab2 220x290

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi...

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Jip2 220x290

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa...

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba

Mo2 220x290

Aba poliisi 300 babanguddwa

Aba poliisi 300 babanguddwa

Jo2 220x290

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko...

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko