TOP

Nkumba esiimye USPA

By Silvano Kibuuka

Added 14th July 2018

TTIIMU ya yunivasite y'e Nkumba eya volleyball, etenderezza omuzinzi oguli mu birabo bya Nile Special – USPA Awards, ebiweebwa bannabyamizannyo abasinze mu mwezi, n’aboomwaka.

Na 703x422

Abazannyi n'abatendesi baabwe nga bajaganya n'ekirabo kya USPA.

Kapiteeni waabwe, Astreede Agaba agambye nti okuwangula obuzannyi bwa June, kye kimu ku byabawadde amaanyi n’okwekkiririzaamu okuwangula zaabu mu mpaka za yunivasite za Afrika ezaabadde mu Ethiopia.

“Twafuna essanyu lingi nga USPA etulonze ku buzannyi bwa June, era kyatuwadde amaanyi okuwangula zaabu mu z'Afrika, era omudaali gwaffe gwe gumu ku gya zaabu e 16 Uganda gye yafunye okuwangula empaka ezo," Agaba bwe yategeezezza ku kijjulo kya Nile Special – USPA Monthly Awards ku wooteeri ya Imperial Royale.

Ttiimu eno yalondebwa oluvannyuma lw'okusitukira mu mpaka za 'Rwanda Genocide Championships’, ezaategekebwa Rwanda, okujjukira ekittabantu ekyaliyo mu 2004.

Abalala abaakwasiddwa ebirabo kuliko; ttiimu ya Cricket Cranes eyatwala ekya May, olw’okuwangula empaka za ICC Cricket Division 4, n’omuddusi Joshua Cheptegei, eyawangula emidaali gya zaabu ebiri mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu Australia mu April.

USPA eri mu kwetegekera ntujjo ya Nile Special – USPA Gala kwe banaakwasiza bannabyamizannyo abasinze mu buli muzannyo mu 2017 ebirabo, wamu n'okuttikira oyo anywedde mu bannaabwe akendo mu mwaka gwonna, nga July 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi