TOP

Lubega 'Vegas' akomyewo awera

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2018

Omuggunzi w’ehhuumi, Joey 'Vegas' Lubega, asuubizza okumalira ku Karama Nyilawila (Tanzania), ekiruyi ky’okukoma ku munaabo, bwe yasubwa omukisa gw’okweddiza omusipi gw’ensi yonna ogwa WBC.

Deal 703x422

Eddie Bazira (ku kkono), owa kkampuni ya Baltic essa mu Lubega ensimbi, Lubega, maneja wa A and B Promotions, Acram Iga ne Andrew Matovu kitunzi waayo.

Lubega yasinzidde mu kutongoza olulwana lwe ne Nyilawila, ku wooteeri ya Kati-Kati e Lugogo, n'agamba nti ennaku Ryno Liebenberg enzaalwa ya South Afrika gye yamulabya mu 2015 ng'amulemesa okweddiza omusipi gwa WBC gwe yalina mu kiseera ekyo, temuvanga ku mwoyo, era kino kye kiseera okugyenaazaako.

Lubega ne Nyilawila bwakubeefuka nga August 25 mu kisaawe kya Hockey e Lugogo nga balwanira omusipi gw’ensi yonna ogwa ‘Universal Boxing Organisation’ mu buzito bwa ‘Cruiser weight’, mu nnwaana 12.

“Sigenda kukkiriza Mutanzania kunjoogera mwaffe, ate nga siri mwetegefu kuddamu kusubwa kuwangula musipi nga bwe gwali mu 2015 ” Lubega bwe yagambye.

Lubega yaakeetaba mu nnwaana 39 kw'awangudde 23, okulemagana 3 n’okukubwamu 13, sso nga Nyilawila wa nnwaana 46, awanguddeko 28 ng'akubiddwa 18.

Lubega yasembye okuzannya mu December w'omwaka oguwedde, bwe yakubwa Arsene Aziev (Russia) n’okulemagana ne Kenny Egan owa Ireland.

Waakubeerawo ennwaana endala okuli olwa Nickolas Bbule ne Hudson Muhumuza abagenda okulwanira omusipi gwa Uganda mu buzito bwa ‘Heavy’, Meddie Ssebyala attunke ne Tonny Onyango (Tanzania), Shadir Musa ne David Ssemuju, Yusuf Babu ne Joseph Owino n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda