TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Owa S.1 addukidde mu bigere n'awangula ez'okwetoloola ebyalo

Owa S.1 addukidde mu bigere n'awangula ez'okwetoloola ebyalo

By Samson Ssemakadde

Added 17th July 2018

OMUYIZI wa S1 eyaddukidde mu bigere anywedde mu banne akendo bw’awangudde empaka z’emisinde gy’okwotoloola ebyalo ezaayitiddwa Inter Schools Competition, omwetabiddwa amasomero okuva mu munisipaali y’e Makindye n’ebitundu bya Kampala.

Dduka 703x422

Agnes Tumusiime

Bya SAMSON SSEMAKADDE 

Agnes Tumusiime ow’emyaka 14 ng’asomera ku Makindye Trinity Secondary School ye yeerisizza enkuuli mu misinde gya kiromita 10 omwetabiddwa abayizi 150 okuva mu masomero 15  abaasimbuddwa okuva ku kkooti e Makindye, ne bayita mu bitundu okwabadde Luwafu, Salaama Kuleekaana,  Boston-Nanganda Lukuli, Church road n’okudda we baatandikidde.

Abdul Latif Ssendagire, akulira ekibiina kya Manage Africa Area Foundation agamba nti emisinde gy’ekika kino girimu nnyo obugayaavu kyetuvudde tusalawo okuteetateeka abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo kuba bangi ku bano balina ebitone nga singa bayambibwako basobola okuvaamu ekintu eky’omugaso.

Omulalwa gw’empaka zino gwabadde gwa kusunsula bayizi bagenda kwetaba mu mpaka z’okutolontoka ebyalo ezigenda okuyindira e  Nairobi mu Kenya  eziyitibwa  First Edition hero’s Event nga  September 19.

Victor Byamugisha omuyizi wa Crested High ye yasinze mu balenzi nga yaddukiddewo eddakiika 29:54:26 wabula Tumusiime kyamutwalidde eddakiika 42:57:18 okutuuka we bamaliririza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condomismaelssempumatestimonywebuse 220x290

Enkozesa ya kondomu eneekutangira...

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Kab2 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba...

Kig1 220x290

Akatabo ka Ham kawangudde engule...

Akatabo ka Ham kawangudde engule ey'okubiri

Kabaleeweb 220x290

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa...

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Hajjathanifakawooya 220x290

Kkooti y'e Sembabule terina kaabuyonjo...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule, Hanifa Kawooya, asabye gavumenti okuzimba ekizimbe kya kkooti y’e...