TOP

Uganda esindise 29 mu za Africa Youths Games e Algeria

By Silvano Kibuuka

Added 17th July 2018

Kiraabu y’emisinde eya Uganda Prisons y’ewangudde emisinde gy’eggwanga egya National Championships y’esitukidde mu mpaka z’eggwanga ezifundikidde sizoni ya 2018 bw’ekung’anyizza obubonero 298 nga mu basajja efunye 143 ate abakazi be baleeta 155.

Tira 703x422

Kiraabu y’emisinde eya Uganda Prisons y’ewangudde emisinde gy’eggwanga egya National Championships y’esitukidde mu mpaka z’eggwanga ezifundikidde sizoni ya 2018 bw’ekung’anyizza obubonero 298 nga mu basajja efunye 143 ate abakazi be baleeta 155.

Eddiriddwa Police abaakiwangula omwaka oguwedde ku bubonero 286 nga mu basajja bafunye 112 ate abakazi ne bafuna 174 olwo ab’ekitongole ekikuuma ebisolo ekya Uganda Wildlife Authority ne bafuna 133 nga mu basajja bafunye 86 ate abakazi 47.

Mu misinde gino omuddusi wa Police Shida Leni alaze omutindo ogweyongedde bw’amenye likoda y’eggwanga mu misinde gya mita bina enfunda bbiri.

Asoose kumenyawo likoda gye yateekawo mu mwezi gwa April mu Commonwealth Games mu Australia eya sikonda 52:47 n’ateekawo eya 52:40 wabula gy’amenyewo akawungezi nga kat empya ya 52:15.

Leni agambye nti kati atunuulidde mpaka za Africa mu Nigeria nga August 1-5 era nga yeesunga kusindanako n’abanene ba Africa naddala okuva mu Mozambique ne Nigeria.

Abaddusi abalala abalaze essajja kwe kuli Benjamin Kiplagat adduka nga bw’abuuka obusenge n’okugwa mu mazzi bw’akomyewo oluvannyuma lw’omwaka mulamba ng’ali mu buvune.

Kiplagat agambye nti aluubirira kuddayo mu mutindo kubanga y’alina likoda y’eggwanga.

Abaddusi 300 okuva mu kiraabu 22 be basindanye mu misinde gino egimaze ennaku bbiri mu kisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole.

“Sizoni ebadde nnungi nga tufuniddemu abaddusi abalinyisizza talanta,” Pulezidenti wa UAF, Dominic Otuchet bw’ategeezezza.

UAF kati bazzaako mpaka za kuwalampa nsozi ez’eggwanga nga bwe beetegekea ez’ansi yonna nga ezitegekeddwa e Kapchorwa nga bwe beetegekera eza MTN Marathon  eza 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheeber 220x290

Sheebah Karungi akutudde ddiiru...

OMUYIMBI Sheebah Karungi oluvudde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde akubira abaayo omuziki atuukidde mu kukutula...

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi

Illegalgears10 220x290

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja...

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja Nalubaale e Jinja Mayuge lwa nvuba mbi

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...