TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Liverpool FC ekoze likodi endala! Yeekudde omusimbi n’egula ‘ekyasi

Liverpool FC ekoze likodi endala! Yeekudde omusimbi n’egula ‘ekyasi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2018

KYADDAAKI, Liverpool yandiba ng’ekizibu kya ggoolokipa ekitutte ebbanga nga kigisumbuwa ekisalidde amagezi.

Alissonbecker990069 703x422

Alisson Becker yeegasse ku Liverpool ku likodi ya bukadde bwa pawundi 66 ekitabangawo

Eggulo, abakungu ba Liverpool bakkiriziganyizza ne kiraabu ya Roma okusonjola Omubrazil Alisson Becker ku bukadde bwa pawundi 67.

Okusinziira ku ndagaano eyakoleddwa wakati wa Liverpool ne Roma, Liverpool yaakusooka kusasula obukadde bwa pawundi 53 n’ekitundu oluvannyuma esasule obulala 9 obubulayo.

Ddiiru eno kati efudde Alisson Becker (25), omukwasi wa ggoolo akyasinze okugulwa ssente ennyingi nga yamenyewo Gianluigi Buffon.

Obutabeera na ggoolokipa mulungi, kyalemesa Liverpool okuwangula Champions League sizoni ewedde, Real Madrid bwe yabakuba ggoolo 3-1. Ggoolo bbiri eya Karim Benzema n’eya Gareth Bale zaava mu nsobi za Loris Karius.

Karius, 25, y’abadde nnamba emu wa Liverpool wabula ensobi ze yakola ku fayinolo ya Champions League, zaaleetera bangi ku bawagizi ba Liverpool okumuggyamu obwesige ekyatadde omutendesi Jurgen Klopp ku puleesa y’okufuna ggoolokipa ali ku ddaala ly’ensi yonna.

Alisson, ye muzannyi owookubiri Liverpool gw’eggye mu Roma mu bbanga lya myezi 13.

Yasooka kugulayo Mohammed Salah mu June wa 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...