TOP

Esperance yampadde essomo - Mutebi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2018

OMUTENDESI wa KCCA , Mike Mutebi akkirizza nti Esperance yabayinze obuzito bwe baabadde battunka mu gwa CAF Champions League ku Lwokubiri.

Mike 703x422

Mike Mutebi, atendeka KCCA FC

Esperance 3-2 KCCA July 28 mu za Afrika e Namboole KCCA - Esperance (Tunisia)

Mutebi, yagambye nti abazannyi be baazannye bulungi ne bakulembera omupiira era nga basobola n’okuguwangula kyokka baatuuse ekiseera ne balemererwa olw’obutaba na bumanyirivu.

Mu ddakiika ey’e 17, Jackson Nunda yateebedde KCCA ggoolo eyasoose ng’omuzibizi wa Esperance, Khalil Chemmam tanneeteeba mu ddakiika ya 21.

Oluvannyuma lwa ggoolo zino KCCA teyazzeemu kufuna buweerero okutuusa Anice Badru ne Saad Bguirmu bwe baateebedde Esperance mu ddakiika eya 30 n’eya 37 olwo omupiira ne guwummula maliri (2-2).

“Twazannye bulungi kyokka obutaba na bumanyirivu kyatuyiyeeyo. Waliwo emikisa gye twafunye nga twetaaga kukozesa bukugu okugiteeba ne kitulema,” Mutebi bwe yategeezezza.

Mutebi yakozeemu enkyukakyuka n’aggyayo, Gift Ali gwe yasikizza Isaac Kirabira.

Ono yamugasseeko Patrick Kaddu mu kifo kya Muhammad Shaban ne Hassan Musana eyazze mu kya Allan Okello. Badding’ana Lwamukaaga lwa wiiki ejja nga July 28.

Wabula Mutebi yagambye nti bagulinamu enkizo kuba bagenda kubeera Namboole gye baakubira Al Ahly (2-0).

Yalabudde nti Esperance esuubire okusanga akaseera akazibu mu gw’okudding’ana kuba agenda kutereeza ensobi ezabakubizza era n’asuubiza abawagizi okubawa essanyu mu mupiira guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namwandu 220x290

Bannamwandu ba Kirya balumbye muggya...

FAMIRE y’omugenzi Sheikh Ibrahim Kirya eyatemulwa mu 2015 eyongedde okutabuka ng’entabwe eva ku bigambibwa nti...

5216 220x290

Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa