TOP

Nneetaagayo abazannyi abalala - Pep Guardiola

By Musasi wa Bukedde

Added 20th July 2018

OMUTENDESI wa Man City, Pep Guardiola agambye nti akyalina ennyonta y’okwongera okunyweza ttiimu ye.

Imagensintitulo 703x422

Pep

Yagambye nti ebimu ku byamuyamba okuwangula Premier sizoni ewedde kwe kuba n’abazannyi abangi ng’ate balungi ne ku mulundi guno ky’ayagala.

Yategeezezza nti wadde yaguze Riyad Mahrez mu Leicester, akyatunuulidde abazannyi abalala.

Ensonda mu Amerika, ttiimu eno gy’eri kati zigamba nti Guardiola yasindise akulira ebyekikugu okwogerako n’omuzannyi wa Bayern, Thiago Alcantara bamuperereze abeegatteako.

“Tewali kupapirira nti twetaaga omuzannyi ono oba oli kyokka bwe tufuna omulungi, tusobola okwogera naye kuba mu nteekateeka zaffe ez’okuwangula ebikopo tukyetaagayo abazannyi,” Guardiola bwe yateegeezezza bannamawulire mu Amerika gye bali kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu