TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Ebya Chamberlain bibi! Tagenda kuzannya mupiira sizoni eno yonna

Ebya Chamberlain bibi! Tagenda kuzannya mupiira sizoni eno yonna

By Musasi wa Bukedde

Added 20th July 2018

EBY’OMUWUWUTTANYI wa Liverpool, Oxlade-Chamberlain bibi oluvannyuma lw’abasawo okukamutema nti tagenda kuzannya mupiira sizoni eno yonna.

Ox981200 703x422

Chamberlain

Omutendesi wa ttiimu eno Jurgen Klopp yategeezezza nti Chamberlin eyalongoosebwa evviivi tagenda kussuuka mangu era ayinza obutalabikako sizoni yonna.

Chamberlin (24), yafuna obuvune Liverpool bwe yali ettunka ne Roma ku semi ya Champions League.

Klopp yategeezezza nti kano ke kaseera okubuulira abawagizi embeera y’omuzannyi ono.

“Chamberlin tugenda kumuwa obudde asobole okuwona obulungi kuba obuvune bwe bwali bw’amaanyi. Tugenda kulaba nga tukola ekisoboka okutaasa ekitone kye wabula tasuubirwa kuzannya sizoni yonna,” Klopp bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti okuva lwe baamulongoosa talina nkyukakyuka yonna kyokka balina okumuwa obudde okutuusa ng’assuuse.

Klopp yagumizza abawagizi nti ttiimu ye erina abazannyi abalungi bangi abasobola okuzannya ennamba Chamberlin gy’azannya.

Yanokoddeyo Roberto Firmino, Sadio Mane, Georginio Wijnaldum, Naby Keita gwe baakakansa n’abalala b’agamba nti balungi okuziba eddibu eryo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...