TOP
  • Home
  • Rally
  • Ssebuguzi alamuza ngule ya ggwanga

Ssebuguzi alamuza ngule ya ggwanga

By Nicholas Kalyango

Added 23rd July 2018

OLUVANNYUMA lw’okumalira mu kifo ekyokubiri mu mpaka za Pearl of Africa Rally ezaabadde e Kayunga ku Lwomukaaga, nnantamegwa wa 2006, 2009 ne 2014, Ronald Ssebuguzi, aweze okulwana asuuze Jas Mangat engule y’eggwanga (NRC) ey’omwaka guno.

20142largeimg228feb2014121407000703422703422703422 703x422

Ronald Ssebuguzi eyakulembedde banne

ABAVUZI NGA BWE BAMAZEEKO

1. M. Baryan/D. Sturrock 2:26:03

2. R. Ssebuguzi/L. Ssenyange 2:30:11

3. J. Mangat/J. Kamya 2:37:06

4. H. Alwi/E. Olinga 2:43:04

5. S. Muwonge/E. Kyeyune 2:48:38

NRC BW’EYIMIRIDDE

Jas Mangat 310

Ronald Ssebuguzi 290

Ssebuguzi, ye Munnayuganda eyakutte ekifo eky’okumpi mu mpaka zino oluvannyuma lwa Munnakenya Manvir Baryan okuziwangula.

Ekifo kino kyamuwadde obubonero 140 bwe yagasse ku 150 bw’abadde nabwo.

Mangat kati amusinza obubonero 20 bwokka ku ngulr ya NRC.

Yategeezezza nti, “Omwaka guno tetwagutandika bulungi. Naye ke ntandise okulingiza ku ngule, kati ebifuba byakutwabika.” Omwaka guno Ssebuguzi yaakamalako empaka za mirundi esatu zokka okuli; ez’e Masaka (yakwata kyakuna), e Fort Portal (yawangula) n’eza ‘Pearl’ mwe yakwatidde ekyokubiri.

Kalenda ya NRC, ebuzaayo empaka za mirundi ebiri okukomekerezebwa.

MANVIR YEEGASSE KU BANNAYUGANDA N’AWERA

Obuwanguzi bwa Baryan, bwamufudde omuvuzi owookusatu okuwangula empaka zino emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa.

Yeegasse ku Charlie Lubega (2003, 2004) ne Riyaz Kurji (2005, 2006).

Manvir kati akulembedde ku ngule ya Afrika n’obubonero 125. “Likodi ya Pearl of Africa Rally ngimenye kati ntunuulidde ya Africa.

Singa mpangula engule ya Afrika kijja kunnyamba nnyo okuzimba erinnya lyange mu muzannyo ng’omu ku bagiwangudde emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa,” Manvir bwe yagambye.

Abalala abaali baawangudde engule ya Afrika emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa ye; Alain Ambrosino enzaalwa y’e Ivory Coast mu 1986 ne 1987, Abazambia; Satwart Singh (1988, 89, 96, 97, 98) ne Muna Singh (2004, 2005) n’Omuzimbabwe James Whyte (2009, 2010).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda