TOP

Basena alidde ogw'obutendesi bwa Villa

By Musasi wa Bukedde

Added 28th July 2018

EYALI omumyuka w’omutendesi wa ttiimu y’eggwanga The Cranes, Moses Basena olumuwadde omulimu gwa Villa n’awera okuzza ekitiibwa kya ttiimu n’ebikopo.

Kola 703x422

Omutendesi wa Villa omuggya , Moses Basena

Bya GERALD KIKULWE

Oluvannyuma lwa kkooki Wasswa Bbosa okusuulawo ttiimu ya SC Villa Jogoo ku nkomerero ya sizoni ewedde,ku Lwokutaano nga July 27,2018 akakiiko ak’ekiseera mu ttiimu eno akaakulembeddwaamu William Nkemba kaalangiridde Moses Basena ng’omutendesi omujjuvu ku ndagaano ya myaka ebiri.

Basena okuva lwe yasuulawo omulimu gwa ttiimu ya UPGF FC ku mu makati ga sizoni ewedde ng’asuubira FUFA okumuwa omulimu gwa Cranes ekitaasoboka, abadde talina ttiimu gy’atendeka era Villa olumuwonyezza akatebe n’asuubiza ensi n’eggulu okuzzaawo ekitiibwa kya Jogoo.

“Mukisa munene nnyo ttiimu yange gye nazannyira omupiira mu myaka gyange okumpa omulimu gw’okugitendeka era nsuubiza nti nzize okuzzaawo erinnya lye twalina mu biseera biri, ekitiibwa n’amaanyi nga tuwangula ebikopo,” Basena bwe yaweze.

Yagasseeko nti nga bw’afunye obuvunaanyizibwa buno waakutegeeza eggwanga mu bwangu ku nsonga y’abatendesi abalala b’anakola nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano