TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Ab'ebikonde beetegekera mpaka za East African Games

Ab'ebikonde beetegekera mpaka za East African Games

By Silvano Kibuuka

Added 30th July 2018

Abakubi b’ebikonde mu ttiimu y’eggwanga bali mu nkambi e Lugogo okwetegekera eby’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa egya East African Games egisookedde ddala nga gyakubumbujjira mu kibuga Bujumbura ekya Burundi okuva nga August16.

Bombestrainjuly30bukeddeweb2 703x422

Omutendesi Zebra Senyange ng'awa abakubi b'ebikoinde obukodyo obuggya. Beetegekera muzannyo gya East Africa Games. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Abakiiko akavunanyizibwa ku mizannyo aka NCS ke kaalagidde ab’ekibiina kya UBF okutegeka ttiimu y’abazannyi 11 abasajja n’eyabakazi abagenda okuvuganya mu mizannyo gino. 

Ttiimu erimu abazannyi abasajja 18 n’abakazi 8 y’eri mu nkambi okwetegekera era ng’omutendesi Zebra Senyange ategeezezza nti bali mu kuwa bazannyi bukodyo okuwangula emidaali mu mizannyo gino. 

Abatendesi abalala abali mu nkambi ye Sam Kabugo, Lawrence Kalyango ne Lamson Lakony nga bali ku basajja ate abakazi babangulwa Mercy Mukankusi.

“Tujja kubasunsula ekiseera kyonna. Tukyabawa bukodyo bonna awamu kubanga n’abatajja kugenda bajja kufunamu,” Senyange bw’ategeezezza.  Ttiimu etendekebwa enkya n’eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi