TOP

Abeebikonde beepikira mpaka za East Afrika

By Silvano Kibuuka

Added 2nd August 2018

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde the Bombers, Patrick Lihanda ategeegezza nti abazannyi ba bali mu mbeeera nnungi nga bati basinze kwefunyirira ku kubawa bukodyo bwa kuzannyisa sipiidi okusobola okusitukira mu mpaka z’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ezitenda okutandika nga August 16 mu kibuga Bujumbura ekya Burundi.

Bomberstrainaug22018bukeddeweb3 703x422

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde the Bombers, Patrick Lihanda ategeegezza nti abazannyi ba bali mu mbeeera nnungi nga bati basinze kwefunyirira ku kubawa bukodyo bwa kuzannyisa sipiidi okusobola okusitukira mu mpaka z’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ezitenda okutandika nga August 16 mu kibuga Bujumbura ekya Burundi.

Lihanda ategeezezza nti akyalina abazannyi 18 abasajja kw’agenda okulonda 10 abagenda mu mpaka zino ezisookedde ddala n’abakazi munaana nga basuubira okutwalako bana.

Ttiimu eno eri mu nkambi e Lugogo kati wiiki nnamba .

Agambye nti okusobola okwongera sipiidi mu bazannyi batandise okubakozesa dduyiro mu ntegeka ekulembeddwa omusawo wa ttiimu, Dokita Christopher Mbowa.

Lihanda ategeezezza nti tebajja kuba na kyakwekwasa mu mizannyo gino kubanga ttiimu yeetegekedde ekiseera ekimala.

Ye Mbowa ategeezezza nti dduyiro z’awadde abazannyi zaakubayamba okuziimba omubiri nga tebajulirira na kubeera mu jiimu.

Ayongeddeko nti era bangi zaakubawonya obuvune bwe babadde batandise okufunira mu kutendekebwa ng’emibiri tegiri fiiti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga

Bpmutebipix 220x290

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi...

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we...

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...