TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Desabre atutte Cranes e Bugiri okwegezaamu

Desabre atutte Cranes e Bugiri okwegezaamu

By Stephen Mayamba

Added 4th August 2018

OMUTENDESI wa Cranes, Sebastien Desabre ttiimu ye agitutte Bugiri okwegezaamu ne ttiimu ya ligyoni y’obuvanjuba (Eastern) n'ekigendererwa ky’okwetegereza omutindo gw’abamu ku bassita b’asuubira okukozesa ku mupiira gwa Tanzania mu z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika omwaka ogujja e Cameroon.

Swala 703x422

Abazannyi ba Cranes mu kutendekebwa e Lugogo ku Lwokuna.

Leero (Lwomukaaga) e Bugiri;

Eastern Region Select – Cranes

Cranes yakukyaza Tanzania nga September 8 e Namboole mu mupiira ogwokubiri mu kampeyini eno ng’eyagala kuguwangula yeenywereze ku ntikko y’ekibinja D. Mu gwasooka, Cranes yalumba Cape Verde omwayo n’egikubirayo ggoolo 1-0.

Desabre agamba omupiira gwa leero mu kampeyini ya ‘Cranes Regional Tour’ ng’oggyeeko okukunga abawagizi, agenda kugukozesa okulaba abazannyi abamu b’ayinza okukozesa ku gwa Tanzania n’okwetegereza omutindo gw’abatalina ttiimu naye nga babadde mpagiruwagga mu Cranes mu kampeyini eziyise.

“Enteekateeka z’okwetegekera omupiira gwa Tanzania zaatandise era omupiira guno ng’enda kugweyambisa okwetegereza abazannyi,” Desabre bwe yategeezezza ku Lwokuna oluvannyuma lw’okutendekebwa e Lugogo.

Abazannyi abagenda okubeera ku minzaani kuliko; Yasser Mugerwa, Moses Oloya, Ivan Bukenya, Shafik Batambuze ne Isaac Isinde omutendesi b’agamba nti abadde tannabawa mukisa kulaba busobozi bwabwe.

Yayongeddeko nti abalala abatandika ku ttiimu enkulu nga Murushid Juuko ne Khalid Aucho akabanga ke bamaze nga tebazannya mupiira gwa kuvuganya, nabo agenda kulaba omutindo gwabwe alabe engeri y’okubayambamu okutuuka ku mutendera gwabagalako.

Mu mupiira ogwasembayo nga July 21 e Kasese, Cranes yagwa maliri ggoolo 2-2 ne ttiimu ennonderere okuva mu ligyoni ya Kitara.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina

Lip2 220x290

Aba Takis bawuttudde omusirikale...

Aba Takis bawuttudde omusirikale

Mah 220x290

Basajjabalaba awadde ekiragiro...

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Po1 220x290

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema...

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana