TOP

Katumwa adduukiridde She Cranes

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2018

Katumwa adduukiridde She Cranes

Deb1 703x422

Katumwa ng'akwasa abakungu ba She Cranes ettu

Bya Gerald Kikulwe

TTIIMU y'eggwanga ey'omuzannyo gw'okubaka "She Cranes" efunye akamwenyumwenyu ku matama munnabyamizannyo omugundiivu era atunda ebikozesebwa ku by'emizannyo mu Kampala David Katumwa bw'abakubye enkata y'emigogo z'engatto16 ezibalirirwamu nga obukadde 3,200,000.

She Cranes ng'esitula olunaku lw'enkya  ku ssaawa 8 ez'emisana okugenda okwetaba mu mpaka  za African Netball Championships 2018 ezigenda okuyindira mu kibuga Lusaka e Zambia wakati wa August 13 ne 19 oluvannyuma lw'okumala wiiki ssatu mu nkambi e Lugogo essanyu ligibugaanye kuba egenda eggumidde.

Empaka zino era ze zigenda okukola ng’ezokusunsulamu abaneetaba mu z’ensi yonna eza Netball World cup 2019 ezigenda okutegekebwa Bungereza mu kibuga Liverpool.

Olwaleero ku makya,Katumwa emigogo gy’engato agikwasizza Lilian Ajio amyuka kapiteeni wa ttiimu  Peace Proscovia ng'awerekeddwaako Maneja wa ttiimu Jocylene Uchanda ne pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF) Suzan Anek.

"She Cranes y’emu ku ttiimu ezisinga okutuwa essanyu n’ekitiibwa nga bannayuganda era  y’ensonga lwaki nga Katumwa tunoonyeza engeri y’okubazzaamu amaanyi mu kaseera kano nga beetegekera okuwanirira Bbendera ya Uganda mu mpaka za Africa," Katumwa bwe yagambye. 

Agasseeko okubaagaliza emikisa era n'asuubiza enkolagana eno etandikiddwaawo obutakoma guno mulundi wabula yakugenda mu maaso buli we wanaabaawo obusobozi.

Maneja wa ttiimu Uchanda yasiimye nnyo Katumwa olw’okubasuula omukono nategeeza nti eno ttiimu ya ggwanga era wadde gavumenti egisasulira tekigaana Bannayuganda balala bonna abalina obusobozi okubakwatizaako mu ngeri yonna ne bwe kuba kwefiriiza bwefiriiza budde ne bayitayo buyusi okulaba ttiimu ng’etendekebwa.

Uganda yaakubbinkana n'ensi 7 okuli Kenya, Namibia, Botswana, Malawi, Zimbabwe ne Zambia abategesi er'ekibinja kya bazannyi 12 n'abakungu 5 be bagenda okulinnya ennyonyi ya Ethiopian Air line nga bukya ku Lwokuna okwolekera e Zambia gye bagenda okusooka okukuba enkambi ya wiiki nnamba okusooka okumanyiira embeera nga bwebetegekera empaka ezigenda okwetawamu 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo