TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abawala 12 bagenze Mozambique kukiikirira Uganda mu za Baseball

Abawala 12 bagenze Mozambique kukiikirira Uganda mu za Baseball

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2018

EKIBINJA ky'abazannyi 12 abatasussa myaka 18 be bagenze e Mozambique okukiikirira Uganda mu mpaka za U18 African Women Basketball Championship ezitandika ku Lwokutaano luno nga 10-19 mu kibuga Maputo.

Ttiimuesiibuddwa1 703x422

Kkooki wa ttiimu Mavita Ali (asooka ku kkono) ng'ali n'abazannyi abagenze

Bya GERALD KIKULWE

Uganda yayiseewo okuzannya mu empaka z’Afrika oluvannyuma lw’okumalira mu kifo ekyokubiri mu mpaka za Regional  Zoon V U18 East African  Championship ezaayindidde e Tanzania omwezi oguwedde, nga Rwanda  ye yeetikka empaka zino ku nsi 4 ezeetabamu  era ababiri bano be bagenda okukiikirira olukalu lwa East Africa.

Uganda yaakubbinka n’ensi 9 okuli Mozambique abategesi, Cote D’evoire, Angola, Algeria, Rwanda, Tunisia, Zimbabwe ne Mali abalina ekikopo ky’Afrika kino.

Ambrose Tashobya Pulezidenti w’ekibiina ekifuga omuzannyo gwa Basketball yakuutidde abazannyi okugenda okuvuganya so ssi kwetaba mu mpaka  bwe baba baakukomawo n’obuwanguzi wamu n’okusitula bbendera ya Uganda ku ntikko.

“Guno omukisa gw’ammaanyi  gye muli abaana b’obuwala kuba  kuzibuka amaaso gaabwe okutandika okutunula mu maaso era eby’omuzannyo bikome wano mugende muteekewo okuvuganya era mudde n’obuwanguzi ate mwolese empisa ennungi.” Tashobya bwe yategeezezza.

Guno mulundi gwa kusatu Uganda okwetaba mu mpaka zino ng’ogwasooka 2008 tebaava mu kibinja, 2016 bakwata kifo kya 8 nga ku luno baagala kucuusa byafaayo.

ABAGENZE

Agatha Kamwada, Bronnie Kusiima, Aisha Namakula, Winnie Alice Isoto, Fildauce Namulema, Bridget Aber, Shadia Mbwali, Ramurah Nakato, Patience Mauso, Martha Nandutu, Emilly Katurina Nerima ne Aziidah Nabayunga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...