TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Basena atandikidde mu ggiya okunoonya abanacangira Villa endiba sizoni eno

Basena atandikidde mu ggiya okunoonya abanacangira Villa endiba sizoni eno

By Silvano Kibuuka

Added 7th August 2018

Omutendesi wa SC Villa omuggya, Moses Basena agambye nti agenda kuzimba ttiimu engumu ddala eneesobola okutwala ekikopo kya Uganda Premier League wadde nga bangi ku bazannyi baayabulidde kiraabo eno.

Scvillatrainaug62018bukedde10 703x422

Omutendesi wa SC Villa Moses Basena nga yeetegereza abasambi mu kutendekebwa e Namboole Aug 6 2018. (ekif:Silvano Kibuuka)

Basema nga yagisambira nako ate n’agitendekako agambye nti olwamuwadde omulimu n’afuna abasambi be okuli Savio Kabugo, Habib Kavume n’abalala

Omutendesi wa SC Villa Moses Basena azziddwa ogwokubiri ku buvunanyizibwa bwa kiraabu eyo agambye nti alina eddimu okugizzaawo n’okuwangula ebikopo nga yalondeddwa akakiiko akassiddwawo bannyini kiraabu oluvannyuma lw’abadde pulezidenti waayo Ying, Moses Misagga okugusuulawo omwezi oguwedde.

Omutendesi ono era nga y’omu ku baalondebwa FUFA ku bumyuka bw’omutendesi wa Cranes agambye nti azze n’abasambi b’aludde nabo b’asuubira nti baakumuyamba era ng’ategeezezza bwati okuli Savio Kabugo ne Habib Kavuma okwegatta ku basambi abaasigalawo

Agambye nti omupiira gw’Olwokuna mu kikopo kya Super Cup gugenda kumuyamba okulaba omutido gw’abazannyi n’abo b’anaaneesibako okuwangula liigi ya 2018/19 eya Uganda nga bw’atunuulidde okugwka 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img20180823wa0018 220x290

Bobi Wine addizza Poliisi omuliro...

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ addizza poliisi omuliro ku ky’okugaana abawagizi be okuyisa...

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...