TOP

Abakazi beebugira mmotoka ya Pool eyateereddwawo

By Silvano Kibuuka

Added 8th August 2018

Abakazi beegulidde emmotoka ya Pool

Jib1 703x422

Abakazi basambira waggulu bwe bayingiziddwa mu mpaka za Nile Special National Open Pool Championships ng’omuwanguzi waakusitukira mu mmotoka Toyota Raum n’ensimbi 1,000,000/=.

Bulijjo babadde bakiyambi mu mpaka zino wabula ku luno baakuvuganya okusinziira ku bweyamo obuweereddwa abaziteekamu ensimbi aba Nile Breweries n’ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno ekya Pool Association of Uganda (PAU).

Bino bibadde ku kitebe kya Nile Breweries ekya Moringa e Bugoloobi mu kutongoza empaka za 2018.

Abakazi 256 be bagenda okuvuganya mu mpaka zino ezitandika omwezi guno nga 24 mu bitundu b’eggwanga ebitali bimu nga 32 be bagenda okuyitamu okugenda e Lugogo ku fayinolo ezisuubirwa nga October 27.

Entegeka eno abadde kugaziya mpaka ezibadde zeetabwamu abasajja bokka nga bagenda kuvuganya ku kkotoka yaakutaano mu mpaka  ezaatandika kati emyaka 10.

Abasajja baakugenda mu maaso n’okuvuganyiza mu bbaala 250 mu kusunsula nga eza rigyoni zaakubumbujjira mu bbaala 40 olwo abawanguzi basatu mu buli kifo bagende e Lugogo.

Baakwegattibwako bakafulu 8 abatagenda kuvuganya mu kusunsulamu olwo 128 bagende ku fayinolo e Lugogo.

“Empaka zigaziye olw’okutandikawo ez’abakyala. Ku fayinolo tugenda kwongera emmeeza okuva ku 16 zidde mu 24. Ez’abasajja zaakusigala nga bulijjo omuwanguzi mw’agenda okufunira kapyata Toyota Alteza. Wonna tutaddemu ensimbi obukadde 350,” kitunzi wa Nile Breweries Francis Nyenge bw’ategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we