TOP

Star Times eyiye mu liigi ya Uganda obuwumbi 28.1

By Silvano Kibuuka

Added 9th August 2018

Star Times eyiye mu liigi ya Uganda obuwumbi 28.1

Sat1 703x422

Abakungu okuva mu Star Times nga batta omukago ne pulezidenti wa FUFA Eng. Moses Magogo

ABA Star Times bayise omudidi gw’ensimbi mu mupiira gwa Uganda bwe bawadde FUFA n’akakiiko akaddukanya liigi aka Uganda Premier League ensimbi ddoola z’Amerika 7,240,000 (muza Uganda obuwumbi 28.1) nga za myaka 10 okutandikira ku sizoni etandika eya 2018/19.

Basasulidde eby’okulanga byonna nga n’okuva kati liigi ya Uganda yaakuyitibwanga Star Times Super League.

Batutte ne liigi ya Big League nga nayo ejja kuyitibwanga Star Times Big League.

Bino byanjuddwa ku Hotel Africana mu lukiiko lwa bannamawulire olutuuziddwa enjuyi zonsatule oluvannyuma lw’okukkiriziganya.

“Eby’okulanga ku mupiira mu kiraabu za Uganda zonna eza Super ne Big League tubyeddizza. Tewakyali akkirizibwa kukwata bifaananyi bya TV na kubiraga mu liigi zombi nga bayita ku mukutu gwonna owg’empuliziganya,” Akulira emirimu ku Star Times, Andy Wang bw’ategeezezza.

Ye pulezidenti wa FUFA Ying, Moses Magogo asiimye enkolagana eno n’agamba nti y’emu ku nkulakulanya y’omupiira mu ggwanga.

Agambye nti endagaano gye baali baakola ne kkampuni ya SB Productions okulaga emipiiira gino yasaziddwamu.

“Tujja kutuula okutemaatema ensimbi zino okulaba mmeka buli kiraabu z’eneefuna buli mwaka,” Ying. Magogo bw’ategeezezza.

Aldrine Nsubuge omumyuka wa pulezidenti wa Srar Times mu Uganda ategeezezza nti enkolagana eno yaakutumbula omupiira nga ttiimu za Uganda ziragibwa mu mawanga ga Africa 38 n’amalala 6 ku lukalu lya Asia.

“Omupiira twagutandika dda mu Uganda nga tuteeka ssente mu kiraabu ya SC Villa ne KCCA FC ku ttiimu n’ekisaawe kya Star Times,” bw’ategeezezza.

Nsubuga agambye nti baakusalawo ku mikutu kwe bagenda okulagira liigi ya Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.