TOP

UGANDA OKUKIIKA MU AFCON ERINA KUWANGULA ZA KUKUSUNSULAMU

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2018

UGANDA OKUKIIKA MU AFCON ERINA KUWANGULA ZA KUKUSUNSULAMU

Met1 703x422

Uganda- Ethiopia(Sunday)

TTIIMU ya Uganda ey’abatasussa myaka 17”CUBBS” eri mu kwetegekera gwanga lya Ethiopia ly’egenda okuggulawo nalyo mu mpaka z’okusunsulamu abanaazannya ez’akamalirizo mu mpaka za AFCON U17 ezitandika ku lwomukaaga luno mu kibuga Dar el Salaam ekya Tanzania.

Uganda yakuzannya omupiira gwayo ogusooka ne Ethiopia ku Sunday bwebali mu kibinja B ng’abalala kuliko Djibouti, South Sudan ne Kenya,ate ekibinja  A kirimu Tanzania Rwanda, Burundi, Somalia ne Sudan .

Amawanga gakuvuganyiza mu Region musanvu nga buli Region mwakuvaamu egwanga limu okuggyako eya Central- East omujja okuva amawanga abiri olw’okuba nti mwemuli Tanzania omutegesi ayitawo obutereevu ,bano oluvannyuma bajja kuzannya ez'akamalirizo era ttiimu ennya ezinaazannya Semi Fayinolo zakukiikirira Africa mu z'ensi yonna ezinaaba mu gwanga lya Pery mu 2019.

Kino kitegeeza nti Uganda okutuuka ku z’akamalirizo eba erina okuwangula ez’okusunsulamu oba okutuuka ku z’akamalirizo ne Tanzania .

Ttiimu yabazannyi 20 yasitula ekiro ekyakeesa olw’okubiri wansi w’omutendesi Onen Peter n’omumyuka we Hamza Lutalo kwossa ne Mubaraka Kiberu nga omutendesi w’abakwasi ba goolo,Onen agamba amawanga agasinga bwebali mu kibinja yazannyako nago mu CECAFA eyali e Burundi Uganda mweyakwatira eky’okusatu,kale manyi obunafu bwabwe na butya bwennyinza okubamegga,Onen bweyatgeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO