TOP

Urban TV ewagidde ekikonde kya Joe ‘Vegas’ Lubega

By Herbert Musoke

Added 12th August 2018

KKAMPUNI ya Vision Group ng’eyita mu mukutu gwayo ogwa Urban TV yeegasse ku kkampuni ya A&B Promotions okutegeka olulwana lw’ebikonde olutuumiddwa Beyond Boarders Survivor Series olw’omulundi ogwokubiri.

Bikonde 703x422

Lubega (ku kkono) ng’akakasa abaamawulire ku Lwokutaano.

Abakubi b’ebikonde bagenda okulwanira emisipi ebiri era mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku Pike House ku kitebe kya Vision Group, Nicholas Bbuule aweze okuwuttula Hadson Muhumuza ku musipi gwa Uganda Heavy Weight Championship sso nga Joe ‘Vegas’ Lubega naye awera okufukirira Omutanzania William Kamanyire eng’uumi asitukire mu musipi gwa Cruiserweight Championship.

Acram Yiga, pulezidenti wa A&B Promotions, yagambye nti emisipi gino gyakkiriziddwa UBO ne UPBC.

“Twagala okulaba nga twongera okuzimba ebitone mu bikonde nga tutandikira ku mutendera ogusooka,” Yiga bw’agamba. Ennwaana zino zaakubeera Lugogo nga baakuttunka mu lawundi 12 nga August 25.

Wabula waakusookawo abaggya abalabi ekifu ku maaso; Muhamed Ssebyala ng’alwana ne Rathan, Solomom Bogere ne Julius Mponge n’abalala.

Desire Atugumisirize, kitunzi wa Urban TV yagambye nti baakulanga olulwana luno ate n’abalabi ba ttivvi eno, baakufuna omukisa okululaba.

Atugumisirize yagambye nti baagala kutumbula bikonde bamanyise abantu nti omuzannyo gusobola okuzimba eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...