TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Express FC eremaganye ne Azam FC eya Tanzania Kisala n'awaga

Express FC eremaganye ne Azam FC eya Tanzania Kisala n'awaga

By Stephen Mayamba

Added 13th August 2018

KEFA Kisala agenda Express FC amatidde omutindo gw'abazannyi be gwe bayoleseza nga balemagana ne Azam FC eya Tanzania nagumya abawagizi nti ttiimu gy'azimba ewa essuubi egenda kubeerabiza ennaku gye bayitamu sizoni ewedde we bawonera awatono okusalwako okudda mu kibinja kya wansi.

Expressazam4 703x422

Nicholas Wadada owa Azam FC eya Tanzania (ku kkono) ng'asikang'ana ne Mubarak Nsubuga owa Express FC mu gw'okwegezaamu e Wankulukuku ku Sande. Balemaganye ggoolo 1-1. (STEPHEN MAYAMBA)

KEFA Kisala agenda Express FC amatidde omutindo gw'abazannyi be gwe baayolesezza nga balemagana ne Azam FC eya Tanzania n'agumya abawagizi nti ttiimu gy'azimba ewa essuubi

Kefa ayongeddeko nti Express gy'azimba lunbabu era egenda kubeerabiza ennaku gye baayitamu sizoni ewedde we baawonera awatono okusalwako okudda mu kibinja kya wansi. 

Mu gw’omukwano ogwazannyiddwa e Wankulukuku ku Ssande, Express ne Azam gwagenze okuggwa nga buli ludda lubala ggoolo emu ku emu.

Daniel Lyanga ye yateebedde Azam FC mu ddakiika ey’e 15 ate  Ruben Matovu n'ateebera Express FC mu kitundu eky’okubiri. 

Kisala mumativu n’omutindo; 

Okukola amaliri ne Azam omutendesi Kisala yagambye nti si kabonero kabi mu mbeera nga bali ku mulimu gwa kuzimba ttiimu egenda okuvuganya mu liigi n’okwewala embeera eyaliwo sizoni ewedde Express FC bwe yawonera awatono okusalwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?