TOP
  • Home
  • Ebirala
  • She Cranes etandise na buwanguzi mu z'Afrika e Zambia

She Cranes etandise na buwanguzi mu z'Afrika e Zambia

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2018

TTIIMU y’eggwanga eyokubaka “She Cranes” etandikidde mu ggiya okweddiza ekikopo kya 2018 African Netball Championship bw’ewuttudde Namibia ku bugoba 72-47 mu nsiike yaabwe eyagguddewo ku Kisaawe kya Youth Olympic Center e Zambia.

Net2e1498512438578 703x422

Bya GERALD KIKULWE

Ogwazannyiddwa mu African Netball Championsip

Namibia 47-72 Uganda

Egiddako

Uganda - Malawi (lwakusatu)

Uganda - Kenya (Lwakuna ku makya)

Uganda – Botswana (Lwakuna lwaggulo)

Zambia – Uganda (Lwakutaano)

Uganda - Zimbabwe (Lwamukaaga)

TTIIMU y’eggwanga eyokubaka “She Cranes” etandikidde mu ggiya okweddiza ekikopo kya 2018 African Netball Championship bw’ewuttudde Namibia ku bugoba 72-47 mu nsiike yaabwe eyagguddewo ku Kisaawe kya Youth Olympic Center e Zambia.

Uganda yalaze ennyonta okuva ku ntandikwa bwe yamazeeko ekitundu ekisooka n’obugoba 40-24 era teyaddiridde ate omutendesi Vicent Kiwanuka bwe yacuusizza Rachael Nanyonga, Ruth Meeme, Kapiteeni Peace Proscovia, Lilian Ajio ne Silvia Nanyonga mu kitundu ekyokubiri n’abasikiza Betty Kiiza, Stella Oyella, Mary Nuba, Muhayimuna Namuwaya ne Joan Nampungu olwo ne gujabagira.

Zino ze mpaka ezigendereddwaamu okufunako ttiimu bbiri ezineegatta ku South Africa ne Malawi okukiikirira olukalu lwa Africa mu z’ensi yonna “2019 National Netball World cup” ezinaayindira mu kibuga Liverpool ekya Bungereza.

Kapiteeni Peace Proscovia yabadde wankizo nnyo era ye yasinze okukola obungi (40) naddirirwa Stella Oyella(15) Rachael Nanyonga (10) ne Mary Nuba(7).

Vicent Kiwanuka omutendesi wa She Cranes ng’ayita ku mukutu gwe ogwa twitter yategeezezza nga bwe batera okusanga obuzibu okuwangula ensiike esooka mu mpaka zino naye ku luno Mukama abagonderezza ensonga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...