Bwe bayimiridde mu bubonero:
1 Ronald Ssebuguzi 34
2. Christakis Fitidis 33
3. Jas Mangat 30
4. Arthur Blick Jr 29
5. Hassan Alwi 16
“Engule y’eggwanga eya NRC sikyasobola kugiwangula wabula ey’omwetooloolo ekyandi mu ttaano, era ηηenda kulwana okulaba ng'omwaka guno siviiramu awo,” Blick Jr, bwe yaweze.
Ku ngule eno, Blick ali mu kyakuna n’obubonero 29, nga Ronald Ssebuguzi akulembedde ne 34, amusinza obubonero butaano.
Empaka za mirundi esatu ze zibula ku ngule eno.
Abavuzi baakukomawo mu nsiike ku wiikendi ya September 7-9, okulwanira obubonero ku ngule y’eggwanga (NRC), ekulembeddwa Jas Mangat n’obubonero 305.