TOP

Abaagusambidde mu bigere bajojobezza abali mu ngatto

By Samson Ssemakadde

Added 15th August 2018

WADDE ng’abasambi ba Kitebi P/S abaakiikiridde zooni ya Wankulukuku bagusambidde mu bigere, balaze obuvumu bwe bakubye aba KCCA P/S Busega abaakiikiridde Nateete abaabadde banyumidde mu ngato ku ggoolo 2-1.

Games2 703x422

Rubaga Zone (2) 1- 1 (3) Kasubi Zone

Wankulukuku Zone 2-1 Nateete Zone

Empaka zino zaabadde ku kisaawe kya Kitebi P/S nga ziyitibwa Ball games nga zetabiddwaAmu amasomero ga Pulayimale 150 okuva mu munisipaali y’e Rubaga wabula nga gyazannyidde mu zooni nnya okuli Kasubi, Wankulukuku, Nateete ne Rubaga.

Mupiira guno, aba zooni y’e Wankulukuku nga bali mu bigere obwedda balumba aba Nateete abaabadde mu ngato nga tebaliimu kutya kwonna ekyaleetedde aba Nateete okutandika okuzannya nga beekuniza nga balinga abatya okubatuusaako obulabe.

Omupiira gwagenze okuggwa nga Fidausi Nangonzi ne Teopista Nakanjakko be bateebedde Wankulukuku ate Trevis Nakiranda n’afuna eya Nateete ne gukomekerezebwa 2-1.

Abayizi beetabye mizannyo nga omupiira gw’abawala n’abalenzi, okubaka, volleyball, ne handball mu mitendera gy’abali wansi w’emyaka 12, 14 ne 16.

Emizannyo gino gibaayo buli ttaamu ey’okubiri nga giri kalenda ya Minisitule evunaanyizibwa ku by’emizannyo n’eby’enjigiriza mu ggwanga nga gitegekebwa KCCA okulondako ttiimu ekiikirira munisipaali yaayo ku mutendera gwa disitulikiti. 

Emizannyo gyonna gyagenze okuggwa nga zooni y’e Nateete enywedde akendo mu batasusa myaka 12, Wankulukuku n’esinga mu b’e 14 Rubaga mu ba 16, Wabula ng’omugatte zooni y’e Wankulukuku ye yasinze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera