Yagambye nti omutendesi Jurgen Klopp mukyamu okumulumba nti azannyisa ttima (Ramos) n’agattako nti, “Musajjamukulu ono anoonya byekwaso bya kikwa kimwezinzeeko eky’obutawangula bikopo bya muzinzi.”
“Mmaze ekiseera nga nzannya omupiira ate nga mpangula ebikopo. Ssaagala muntu yeekwasakwasa busongasonga. Nze mbadde mmulemesa okuwangula ebikopo ebirala,” Ramos bwe yacwanye.
Real Madrid yawangula Liverpool (3-1) okutwala ekikopo kya UEFA Champions League omulundi ogwokusatu oguddiring’ana.
Mu nsiike eno, Salah yavaamu ng’afunye obuvune ku kibegabega oluvannyuma lwa Ramos okumusuula n’amugwira.
Leero, Real Madrid ettunka ne Atletico Madrid mu kikopo kya ‘UEFA Super Cup’.