Malawi 46 – 51 Uganda
Namibia 54-34 Kenya
Obuwanguzi buno nga bwe bwokubiri mu mpaka zino (yaguddewo na kukuba Zambia eggulo Lwokubiri) butangaaziza emikisa gya Uganda okuwangula empaka zino nga kwotadde n’okugisobozesa okuyitamu okuzannya mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup ezigenda okutegekebwa e Bungereza mu kibuga Liverpool omwaka ogujja singa emalira mu basinze ababiri mu mpaka zino.
Uganda etandikiddewo okulaga nti ebadde ekimye buwanguzi bwewangudde akatundu akasooka ku buna ne ggoolo 15 – 9. Mu k’okubiri Malawi egezezaako wabula era Uganda negaana okupondooka ne kagwa nga Uganda esinga ggoolo satu zokkaku mugatte gwa 25-22. Ak’okuuna kawedde Uganda ereebya ggoolo 38 – 36 olwo ne guggwa nga She Cranes ewangudde 51-46
Enkya Uganda ezannya emipiira ebiri ne Kenya ku makya ku ssaawa 5 n’ogwokubiri ku ssaawa 11 ng’ettunka ne Botswana.