TOP

Ssentebe wa Express omuggya alaze ky’asookerako

By Hussein Bukenya

Added 19th August 2018

Ssentebe wa Express omuggya alaze ky’asookerako

Ki1 703x422

MUNNAMATEEKA Kiryowa Kiwanuka eyalondeddwa ku bwassentebe bwa Express, alaze w’agenda okutandikira mu kutereeza ttiimu eno agizze ku maapu. Kiwanuka, omu ku bannamamateeka ab’amaanyi mu Kampala, olukiiko lw’abayima ba Express lwe lwamufuzzeeko eddusu okugikulembera ng’adda mu bigere bya Hajji Hassan Bulwadda eyawummuziddwa olw’obutawa ttiimu eno budde bumala.

Olukiiko lw’abayima ba Express nga lukulirwa Omulangira Kassim Nakibinge olwatudde ku Lwokubiri e Kibuli, lwe lwasazeewo Kiwanuka okutwala obukulu buno oluvannyuma lw’okukizuula nga ttiimu eno muwagizi waayo lukulwe era amanyi ebizibu byayo. Kiwanuka, muzzukulu wa Jolly Joe Kiwanuka, eyatandikawo Express mu gy’e 70, yagambye nti ttiimu gy’azzeemu agimanyi bulungi era mumalirivu okumalawo ebizibu byayo byonna.Agamba nti alina obukugu mu bukulembeze ate n’omupiira aguluddemu ekigenda kumwanguyiriza okubbulula ttiimu eno. “Omupiira sigwamu mugwe, buli kimu nkimanyi kuba ttiimu eno nagenda okuzaalibwa nga ngiwagira.

Ng’enda kuleeta ebintu bingi ebipya okutuusa ttiimu yaffe bw’eneetereera,” Kiwanuka bwe yaweze. Yasabye abawagizi n’abantu abaagaliza ttiimu eno ebirungi okumuwagira kuba tekigenda kuba kyangu ng’ali yekka. “Buli omu alina okukola omulimu gwe lwe tugenda okuzza Express ku maapu etuuke okweyagaza buli muntu.

Kitaawe wa Kiwanuka, Jimmy Mugambe Kiwanuka ssaako muganda we Sam Kiwanuka baaliko bassentebe baayo sso nga naye (Kiryowa Kiwanuka) yaliko omuwandiisi waayo mu sizoni ya 2005/06. Kiryowa yagambye nti olukiiko olwagenda okuddukanya nalwo ttiimu waakululangirira wiiki ejja era n’asuubiza nti baakufuna siponsa mu bwangu ddala. Sizoni ewedde, Express yawonedde watono okusalwako.

Hajj Bulwadda, eyagobeddwa, yagambye nti ayagaliza ssentebe omuggya obukulembeze obulungi kuba amumanyi nti mukozi nnyo ate alina ebyafaayo ebirungi kuba ava mu famire ya ttiimu eno.

Mu myaka ebiri, Express ebadde ne bassentebe basatu okuli; Nakiwala Kiyingi, Hajji Bulwadda ne Kiryowa Kiwanuka eyaakalondebwa abayima ba Express.

KIRYOWA KIWANUKA Y’ANI?

Munnamateeka mu kkampuni ya Kiryowa Kiwanuka-K&K Advocates.

Emisomo yagitandikira mu Budo Junior School, King’s College Budo, Makerere College School, Makerere University ne University of Dundee.

Alina diguli mu byamateeka, dipulooma mu mateeka gye yafuynira ku Law Development Centre ne diguli eyookubiri mu mateeka agafuka ebyamafuta.

Mu kaseera kano y’omu ku bammemba ku boodi ya Petroleum Authority of Uganda. Yaliko pulezidenti w’ekibiina ekifuga omuzannyo gwa golf mu 2015 kyokka yasooka kubeera mumyuka mu kifo kino.

ABANTU KYE BOOGERA Kavuma Kabenge( yaliko ssentebe wa Express); Kiryowa Kiwanuka akyali muvubuka muto, by’akola abimanyi ate yeewaayo mu buli kimu kyokka engeri gye bamulonzeemu y’egenda okumulemesa okukola.

Sisitiimu ya Bbaale Mugera ey’okulonda ssentebe teyamba ttiimu. Asobola okukola naye agenda kukoowa mangu kuba, ttiimu yeetaaga abantu abagirinamu emigabo nga bagiteekamu ssente sso si nkola ya Bbaale eterina ky’eyamba.

Kasim Buyondo (yaliko maneja wa Express); Kiryowa Kiwanuka mulungi naye eby’okulonda bwe biti bwaggwaako mu mupiira. Engeri gy’azzeemu egenda kumulemesa okukola nga bwe gubadde ku balala bonna be babadde balonda.

Bw’aba waakukola, afune abantu abatuufu mu bifo ebituufu. Francis Buwule (yaliko ssentebe); Kiryowa agenda kuteeka ttiimu yaffe ku maapu kuba akyali muto, mukozi nnyo ate ky’akokla akyagala era alina obusobozi.

Muhamood Kateregga (yali muzannyi); Kiryowa Kiwanuka ajjidde mu kaseera akatuufu era agenda kukola omulimu omulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...