TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Joey Vegas Lubega atimpudde Omutanzania n'awa Bannayuganda essanyu

Joey Vegas Lubega atimpudde Omutanzania n'awa Bannayuganda essanyu

By Silvano Kibuuka

Added 26th August 2018

Joey Vegas Lubega awadde bannayuganda essanyu bw’awangudde omusipi gw’ensi yonna ogw’omutendera gwa Universal Boxing Organization (UBO) mu buzito bwa Cruiser Weight (kiro 86) ng’akubye Karama Nyilawila owa Tanzania ebikonde ebimubuzizzaako bwekyusizo n’amuwangulira mu lukontana olwokutaano.

Profboxinglubegabukeddeweb9 703x422

Joey Vegas Lubega awadde bannayuganda essanyu bw’awangudde omusipi gw’ensi yonna ogw’omutendera gwa Universal Boxing Organization (UBO) mu buzito bwa Cruiser Weight (kiro 86) ng’akubye Karama Nyilawila owa Tanzania ebikonde ebimubuzizzaako bwekyusizo n’amuwangulira mu lukontana olwokutaano.

Nyilawila yagaanyi okudda mu nsiike mu lukontana olwomukaaga nga baabadde bagenda kuzannya 12.

Yasoose okumusuula ku ttaka mu lukontana olwokuba n’asituka n’amuzzaako mu lwokutaano nga buli mulundi ddiifiri Abdu Kaddu Sabata amubalira n’asituka nga tanaba kutuuka ku 10.

Ebikonde bino bibadde ku kisaawe kya Hockey Ground e Lugogo mu kiro ekikeesezza leero nga bitegekeddwa aba A and B Promotions.

Mu nwana endala, Nicholas Buule awangudde engule y’eggwanga esooka bw’akubye Hudson Muhumuza abadde nayo okuva mu 2012 wabula nga tagitaasanga.

Kyokka engule agifiiriddwa lwa kuzannyisa ttima ng’akuba Buule ebikonde ng’ali ku ttaka ddiifiri Jackson Mugwanya n’abiyimiriza.

Mu nwana endala, Solomon Bogere akubye Julius Mponge tonziriranga mu lukontana olwokusatu, Muhammad Sebyala b’akuba Ramathan Omari owa Tanzania tonziriranga mu lukontana olusooka ate Brian Wassajja n’akuba Sula Katumba ku bunonero ne Saidi Chako n’awangula Joseph Sentongo mu ngeri y’emu.

Abayimbi Rema Namakula wamu ne Fik Fameica be baavamudde abawagizi b’ebikonde n’emiziki.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600