TOP

Bisaso azzeeyo mu Proline

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2018

EYALIKO omutendesi wa Proline FC eya Big League Shafiq Bisaso amaze ddaaki n’addayo okutendeka ttiimu eno oluvannyuma lw’emyaka 4 nga yagyabulira.

Bisasongayogerakoeriabamawulire 703x422

Bisaso ng'ayogera n'abaamawulire

Bya GERALD KIKULWE

Oluvannyuma lwa Bisaso eyatendekako Proline Soccer Academy FC wakati wa 2011-14, okusuulawo Express FC mu liigi ya babinywera gy’abadde sizoni ewedde, azze mu kifo kya Mujib Kasule eyawanika ekifo ky’obutendesi bwa Proline omwezi oguwedde nga kati Bisaso waakukola omulimu guno ku ndagaano ya myaka ebiri.

Sizoni ewedde Proline FC yasalwako okuva mu Liigi ya babinywera n’eddayo mu Big League era olukiiko olwali luddukanya ttiimu eno lw’asattululwa nga kati Bisaso waakumyukibwa Ronald Kaweesa eyazze mu kifo kya Baker Mboowa olwo Swaib Ssebaggala atendeke ba Kippa.

Bisaso agamba nti tewali kinyuma nga mwana kuddayo waka okumala ebbanga era kino kimusanyusizza nnyo nga waakulwana okubbulula ttiimu eno ekomewo mu “Super”

Bisaso atendeseeko ttiimu okuli Express FC, Soana FC , Masavu FC,SC Villa Jogoo ne KJT FC.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...