TOP
  • Home
  • Mupiira
  • MUBS yeeswanta kukuba Kyambogo mu za Yunivasite

MUBS yeeswanta kukuba Kyambogo mu za Yunivasite

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2018

OMUTENDESI wa MUBS Charles Lukula Ayiekho oluvannyuma lwa Kyambogo okumukubya akaga mu kibinja C n’amalira mu kyokubiri ekitundu kya sizoni ekyasooka, awera kutandika na buwanguzi mu mpaka za Pepsi University Football League.

Ttiimuyakyambogo2 703x422

Abazannyi ba Kyambogo

Bya GERALD KIKULWE

Leero mu Pepsi Uiversity football league

Kyambogo - MUBS, Kyambogo

Oluvannyuma lwa Liigi eno okuwummula emyezi ebiri, ku lwokuna lwa wiiki eno lw’eddamu okutojjera nga Kyambogo University eddingana ne MUBS oluvannyuma lw’ensisinkano eyasooka e Nakawa okuggweera mu maliri ga ggoolo 1-1, ku luno ababiri bano baagalo kwemala ggayangano nga balwanira okulaba ani ayita mu kibinja.

Guno gwe mupiira oguggulawo ekibinja C omuli Kyambogo University, Mbarara University of Science and Technology (MUST), YMCA  ne MUBS  nga mu kibinja batwalako ttiimu bbiri ezikulembera okwesogga omutendera gwa “Quarter”.

Ayiekho eyakawangula Fayinolo bbiri ez'omuddiring'anwa kw’ezo essatu z’atuuse ku luzannya lw’akamalirizo, agamba nti eno yandiba sizoni ye esembyeyo mu Liigi eno era ayagala kugiwunzika na kikopo kya 3.

“Ekitundu kya sizoni ekyasooka tekyatambula bulungi naye omupiira gucuuka mu kadde mpa we kaaga era ku luno twagala kulaga Kyambogo nti tetuwangudde liigi eno mirundi ebiri lwa butanwa,” Ayiekho bwe yaweze.

Eno ye sizoni eyo 7 bukya liigi etandika mu 2012 nga MUBS ne KU zigiwangudde emirundi ebiri,Makerere University ne UMU omulundi gumu ate ezisigadde tezirinaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.