TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kisala agumizza abawagizi ba Express: 'Tugenda kuwangula liigi sizoni ejja'

Kisala agumizza abawagizi ba Express: 'Tugenda kuwangula liigi sizoni ejja'

By Silvano Kibuuka

Added 28th August 2018

Omutendesi wa Express FC Kefa Kisala agumizza abawagizi nti ttiimu eteredde oluvannyuma lw’okufuna obukulembeze obujja n’abavujjirizi wamu n’abasambi okuva ebweru w’eggwanga.

Expresstrain12aug282018coachkisala 703x422

Omutendesi wa Express FC Kefa Kisala ng'ali n'abasambi mu kutendekebwa e Wankulukuu Aug 28 2018. (ekif:Silvano Kibuuka)

Abadde Wankulukuku mu kubangula basambi nga beetegekera liigi ya Star Times esuubirwa omwezi ogujja.

Kisala ategeezezza nti obukulembeze bwa ssentebe omujja Kiryowa Kiwanuka buzze n’enkola ennung’amu omuli okuwa abasambi emisaala ne kontulakiti nga kigenda kubongeramu amaanyi n’okufiirira ttiimu.

Ategeezezza nti olukoba alusibidde ku basambi okuli Tony Odur ne Ibrahim Kayiwa abaakomyewo ku kiraabu nga kw’agasse ab’oluganda Eric Kambale ne Trezor Kambale abavudde e Congo.

Afunye n’omukwasi wa ggoolo Fabian Mutombolo abadde akwatira e Rwanda nga bagenda okuzibikira ebituli by’abasambi abaayabulidde kiraabu okuli Ibrahim Jingo, Kisujju, Ayub Kisalita, David Muhabwe n’abalala.

Agambye nti ayagala kyakuna oba okutwala ekikopo.

Kisala ategeezezza nti ttiimu agigesezezza nga tekubiddwamu mu mupiira egy’omukwano gy’asambye.

Baalemaganye ne Soana 1-1, Azam FC 1-1 ate ne bakuba Wakiso Giants 2-1 nga bwe bazzizza eza yunivasite eya St Lawrence ne KIU ze bakubye 8-0 ne 7-0 buli emu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...