TOP

Vardy ayabulidde ttiimu y'eggwanga lwa famire

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2018

Kino kye kiseera famire yange ngyongere ku budde bwe mbadde ngiwa.

2015leicesterchamps4 703x422

Vardy ng'ali ne mukyala we n'omu ku baana baabwe.

Omuteebi wa Bungereza, Jamie Vardy annyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga.

Omuzannyi ono ow’emyaka 31, agamba nti ayagala kuwa famire ye obudde obumala ssaako kiraabu ye eya Leicester.

Vardy, yaliyo mu World Cup e Russia, Bungereza mwe yamalira ku semi kyokka talina mupiira gwonna gwe yatandika.

Vardy agamba nti, “Kino kivudde ku mutima gwange. Sikula nga nzira buto ate nga nneetaaga n’okulabirira famire yange.”

Yeegasse ku Gary Cahill naye eyalangiridde bw’annyuse ttiimu y’eggwanga. Omuzannyi ono yayamba Leicester okuwangula ekikopo kya Premier mu sizoni ya 2015/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi