TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Shafiq Bisaso asuubizza okuzza Proline ku maapu

Shafiq Bisaso asuubizza okuzza Proline ku maapu

By Ismail Mulangwa

Added 30th August 2018

Omutendesi wa Proline omuggya, Shafiq Bisaso agambye nti agenda kuzimba ttiimu kabiriiti eneesobola okudda mu liigi ya babinywera sizoni ejja

Proweb 703x422

Shafiq Bisaso ng'awa abazannyi ebiragiro

Proline 1-3 Mawokota

 

OMUTENDESI wa Proline omuggya, Shafiq Bisaso, asuubizza okuzza kiraabu eno ku maapu. Proline y’emu ku ttiimu ezaasalwako mu liigi ya ‘Super’ era sizoni eno egenda kuzannyira mu ‘Big League’.

 

Bisaso yagambye nti omupiira gw’omukwano ttiimu ye gwe yazannye ne Mawokota mu kisaawe e Lugogo, gw'amuyambye okwongera okwetegereza abazannyi abapya, wamu n’awakyali ebituli byalina okutunulamu nga sizoni tennatandika . Mawokota yawangudde ggoolo 3-1.

 

“ Ng’enda kwongera okutegeka emipiira gy’omukwano, kisobozese abazannyi okwemanya wamu n’okulinnyisa omutindo, era nkakasa nti liigi we neetandikira nga buli kimu kiri bulungi,|” Bisaso bwe yagambye.

 

Abazannyi 22 be baakakasiddwa okuzannya liigi sizoni ejja  era baatandise okutendekebwa ku Mmande e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

Sit14 220x290

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko...

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Tip25 220x290

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino...

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino