TOP

Abawagizi batabukidde omukungu wa ManU

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

Abawagizi bapangisizza ennyonyi etambuze ebipande ebivumirira Ed Woodward akulira emirimu mu ManU.

Woodward 703x422

Akulira emirimu mu ManU, Ed Woodward

Puleesa yeeyongedde ku Ed Woodward akulira emirimu mu ManU abawagizi bwe bamuvuddemu ne bamulangira okukwatirira ssente.

Ku mupiira mwe baawangulidde Burnley ggoolo 2-0, abawagizi baapangisizza ennyonyi n’eyita mu bbanga ng’eriko ebigambo ebigamba nti, “Woodward specialist in failure.”

Ebitegeeza nti, ‘Woodward kafulu mu kulemwa”.

Obusungu bw’abawagizi buva ku kya ManU kulemwa okuwangulayo abazannyi ab’omuzinzi abandiyambye ttiimu okuggumira.

ManU yeggyeeko ekikwa ky’emipiira ebiri gy’ebadde emaze nga tewangula nga ggoolo za Romelu Lukaku ze zaabawadde obubonero obusatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera