TOP

SC Villa ekansizza Watenga

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

ABADDE omukwasi wa ggoolo ya SC Vipers, Ismeal Watenga awonye okuyenjeera ku nguudo ng’anoonya omulimu ttiimu ya SC Villa Jogoo bw’emukansizza ku ndagaano ya myaka ebiri.

Ismawatenga 703x422

Ismail Watenga

Bya GERALD KIKULWE

Watenga yagaana okuzza obujja endagaano ye ne SC Vipers ng’ayagala okumwongeza omusaala ekyaleetawo obutakkaanya ne bannyini ttiimu era bwatyo n’agyabulira wiiki ewedde,SC Villa Jogoo ne yeelondera ekiwedde.

Asuubirwa okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi wakati  wa Samson Kirya, Yusuf Wasswa ne Samuel Kivumbi ba Kippa ba Jogoo.

Ono kati ye muzannyi owa 20 omutendesi Moses Basena gwe yakaleeta mu kadirisa k’abazannyi okucuusa ttiimu okuli Savio Kabugo, Ibrahim Mugulusi, Hussein Zzinda, Isma Kabugu, Puis Wangi, Mike Sserumaga, Bobosi Byaruhanga, Bashir Mutanda, Yusuf Mukisa, Edgar Luzige, Derrick Ndahiro, Habib Kavuma, Joseph Ssemuju, Emmanuel Okong, Abdu Rahman Ajab, Manko Kaweesa, Linkon Mukisa, Moses Kiggundu, Robert Katabalwa ne Ashraf Mandela.

SC Villa Jogoo sizoni ewedde baamalira mu kifo kya 3 n’obubonero 55 mu mipiira 30 emabega wa KCCA FC ne ba champiyoni SC Vipers.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...

Sese 220x290

Karungi nzaalira omusika tweyanjule...

ALEX Divo ne Lailah Karungi ab’e Ndejje Lubugumu bamaze emyaka ena nga baagalana naye ng’omukwano gwabwe bagamba...

Ssenga1 220x290

Ssenga nsusse obugazi!

NDI mukyala mufumbo nnina n’abaana babiri naye baze agamba nti ndi mugazi. Nkole ntya? Nze Fiina e Mukono.